< ישעה 10 >
הוֹי הַחֹֽקְקִים חִקְקֵי־אָוֶן וּֽמְכַתְּבִים עָמָל כִּתֵּֽבוּ׃ | 1 |
Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
לְהַטּוֹת מִדִּין דַּלִּים וְלִגְזֹל מִשְׁפַּט עֲנִיֵּי עַמִּי לִֽהְיוֹת אַלְמָנוֹת שְׁלָלָם וְאֶת־יְתוֹמִים יָבֹֽזּוּ׃ | 2 |
okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde; era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe, ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe, n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
וּמַֽה־תַּעֲשׂוּ לְיוֹם פְּקֻדָּה וּלְשׁוֹאָה מִמֶּרְחָק תָּבוֹא עַל־מִי תָּנוּסוּ לְעֶזְרָה וְאָנָה תַעַזְבוּ כְּבוֹדְכֶֽם׃ | 3 |
Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango ne mu kuzikirira okuliva ewala? Muliddukira w’ani alibayamba? Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
בִּלְתִּי כָרַע תַּחַת אַסִּיר וְתַחַת הֲרוּגִים יִפֹּלוּ בְּכׇל־זֹאת לֹא־שָׁב אַפּוֹ וְעוֹד יָדוֹ נְטוּיָֽה׃ | 4 |
Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe oba okuba mu abo abattiddwa. Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo, era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
הוֹי אַשּׁוּר שֵׁבֶט אַפִּי וּמַטֶּה־הוּא בְיָדָם זַעְמִֽי׃ | 5 |
“Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange, era omuggo gw’ekiruyi kyange.
בְּגוֹי חָנֵף אֲשַׁלְּחֶנּוּ וְעַל־עַם עֶבְרָתִי אֲצַוֶּנּוּ לִשְׁלֹל שָׁלָל וְלָבֹז בַּז (ולשימו) [וּלְשׂוּמוֹ] מִרְמָס כְּחֹמֶר חוּצֽוֹת׃ | 6 |
Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama, era mmusindika eri abantu abansunguwazizza, abanyage, ababbire ddala, n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
וְהוּא לֹא־כֵן יְדַמֶּה וּלְבָבוֹ לֹא־כֵן יַחְשֹׁב כִּי לְהַשְׁמִיד בִּלְבָבוֹ וּלְהַכְרִית גּוֹיִם לֹא מְעָֽט׃ | 7 |
Naye kino si kye kigendererwa kye, kino si ky’alowooza. Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza, okumalirawo ddala amawanga mangi.
כִּי יֹאמַר הֲלֹא שָׂרַי יַחְדָּו מְלָכִֽים׃ | 8 |
‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
הֲלֹא כְּכַרְכְּמִישׁ כַּלְנוֹ אִם־לֹא כְאַרְפַּד חֲמָת אִם־לֹא כְדַמֶּשֶׂק שֹֽׁמְרֽוֹן׃ | 9 |
‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi, ne Kamasi nga Alupaadi, ne Samaliya nga Ddamasiko?
כַּֽאֲשֶׁר מָצְאָה יָדִי לְמַמְלְכֹת הָֽאֱלִיל וּפְסִילֵיהֶם מִירוּשָׁלַ͏ִם וּמִשֹּׁמְרֽוֹן׃ | 10 |
Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje, abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya,
הֲלֹא כַּאֲשֶׁר עָשִׂיתִי לְשֹׁמְרוֹן וְלֶאֱלִילֶיהָ כֵּן אֶעֱשֶׂה לִירֽוּשָׁלַ͏ִם וְלַעֲצַבֶּֽיהָ׃ | 11 |
nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’”
וְהָיָה כִּֽי־יְבַצַּע אֲדֹנָי אֶת־כׇּל־מַֽעֲשֵׂהוּ בְּהַר צִיּוֹן וּבִירוּשָׁלָ͏ִם אֶפְקֹד עַל־פְּרִֽי־גֹדֶל לְבַב מֶלֶךְ־אַשּׁוּר וְעַל־תִּפְאֶרֶת רוּם עֵינָֽיו׃ | 12 |
Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala.
כִּי אָמַר בְּכֹחַ יָדִי עָשִׂיתִי וּבְחׇכְמָתִי כִּי נְבֻנוֹתִי וְאָסִיר ׀ גְּבוּלֹת עַמִּים (ועתידתיהם) [וַעֲתֽוּדֹתֵיהֶם] שׁוֹשֵׂתִי וְאוֹרִיד כַּאבִּיר יֽוֹשְׁבִֽים׃ | 13 |
Kubanga yayogera nti, “‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange, era n’olw’amagezi gange, kubanga ndi mukalabakalaba: Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe, ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
וַתִּמְצָא כַקֵּן ׀ יָדִי לְחֵיל הָעַמִּים וְכֶֽאֱסֹף בֵּיצִים עֲזֻבוֹת כׇּל־הָאָרֶץ אֲנִי אָסָפְתִּי וְלֹא הָיָה נֹדֵד כָּנָף וּפֹצֶה פֶה וּמְצַפְצֵֽף׃ | 14 |
Ng’omuntu bw’akwata mu kisu, omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga; ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo, bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna, tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro, newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’”
הֲיִתְפָּאֵר הַגַּרְזֶן עַל הַחֹצֵב בּוֹ אִם־יִתְגַּדֵּל הַמַּשּׂוֹר עַל־מְנִיפוֹ כְּהָנִיף שֵׁבֶט וְאֶת־מְרִימָיו כְּהָרִים מַטֶּה לֹא־עֵֽץ׃ | 15 |
Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa? Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa? Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa, oba omuggo okusitula oyo atali muti.
לָכֵן יְשַׁלַּח הָֽאָדוֹן יְהֹוָה צְבָאוֹת בְּמִשְׁמַנָּיו רָזוֹן וְתַחַת כְּבֹדוֹ יֵקַד יְקֹד כִּיקוֹד אֵֽשׁ׃ | 16 |
Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna, kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja, era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro ogwokya ng’oluyiira.
וְהָיָה אֽוֹר־יִשְׂרָאֵל לְאֵשׁ וּקְדוֹשׁוֹ לְלֶהָבָה וּבָעֲרָה וְאָכְלָה שִׁיתוֹ וּשְׁמִירוֹ בְּיוֹם אֶחָֽד׃ | 17 |
Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro, n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro, mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala amaggwa ge n’emyeramannyo gye.
וּכְבוֹד יַעְרוֹ וְכַרְמִלּוֹ מִנֶּפֶשׁ וְעַד־בָּשָׂר יְכַלֶּה וְהָיָה כִּמְסֹס נֹסֵֽס׃ | 18 |
Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye, n’ennimiro ze, engimu, ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.
וּשְׁאָר עֵץ יַעְרוֹ מִסְפָּר יִהְיוּ וְנַעַר יִכְתְּבֵֽם׃ | 19 |
N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo nga n’omwana ayinza okugibala.
וְהָיָה ׀ בַּיּוֹם הַהוּא לֹא־יוֹסִיף עוֹד שְׁאָר יִשְׂרָאֵל וּפְלֵיטַת בֵּֽית־יַעֲקֹב לְהִשָּׁעֵן עַל־מַכֵּהוּ וְנִשְׁעַן עַל־יְהֹוָה קְדוֹשׁ יִשְׂרָאֵל בֶּאֱמֶֽת׃ | 20 |
Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri, n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo nga tebakyeyinulira ku oyo eyabakuba naye nga beesigama ku Mukama Katonda, omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
שְׁאָר יָשׁוּב שְׁאָר יַעֲקֹב אֶל־אֵל גִּבּֽוֹר׃ | 21 |
Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
כִּי אִם־יִהְיֶה עַמְּךָ יִשְׂרָאֵל כְּחוֹל הַיָּם שְׁאָר יָשׁוּב בּוֹ כִּלָּיוֹן חָרוּץ שׁוֹטֵף צְדָקָֽה׃ | 22 |
Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja, abalikomawo nga balamu baliba batono. Okuzikirira kwo kwa kubaawo kubanga kusaanidde.
כִּי כָלָה וְנֶחֱרָצָה אֲדֹנָי יֱהֹוִה צְבָאוֹת עֹשֶׂה בְּקֶרֶב כׇּל־הָאָֽרֶץ׃ | 23 |
Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.
לָכֵן כֹּֽה־אָמַר אֲדֹנָי יֱהֹוִה צְבָאוֹת אַל־תִּירָא עַמִּי יֹשֵׁב צִיּוֹן מֵאַשּׁוּר בַּשֵּׁבֶט יַכֶּכָּה וּמַטֵּהוּ יִשָּֽׂא־עָלֶיךָ בְּדֶרֶךְ מִצְרָֽיִם׃ | 24 |
Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti, “Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni, temutyanga Abasuli, newaakubadde nga babakuba n’oluga era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
כִּי־עוֹד מְעַט מִזְעָר וְכָלָה זַעַם וְאַפִּי עַל־תַּבְלִיתָֽם׃ | 25 |
Kubanga mu kaseera katono nnyo obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”
וְעוֹרֵר עָלָיו יְהֹוָה צְבָאוֹת שׁוֹט כְּמַכַּת מִדְיָן בְּצוּר עוֹרֵב וּמַטֵּהוּ עַל־הַיָּם וּנְשָׂאוֹ בְּדֶרֶךְ מִצְרָֽיִם׃ | 26 |
Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu. Era aligololera oluga lwe ku nnyanja nga bwe yakola e Misiri.
וְהָיָה ׀ בַּיּוֹם הַהוּא יָסוּר סֻבֳּלוֹ מֵעַל שִׁכְמֶךָ וְעֻלּוֹ מֵעַל צַוָּארֶךָ וְחֻבַּל עֹל מִפְּנֵי־שָֽׁמֶן׃ | 27 |
Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo, n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo; ekikoligo kirimenyebwa olw’obugevvu bwo.
בָּא עַל־עַיַּת עָבַר בְּמִגְרוֹן לְמִכְמָשׂ יַפְקִיד כֵּלָֽיו׃ | 28 |
Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi, liyise mu Migulooni, era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.
עָֽבְרוּ מַעְבָּרָה גֶּבַע מָלוֹן לָנוּ חָֽרְדָה הָרָמָה גִּבְעַת שָׁאוּל נָֽסָה׃ | 29 |
Bayise awavvuunukirwa, e Geba ne basulayo ekiro kimu, Laama akankana, Gibea wa Sawulo adduse.
צַֽהֲלִי קוֹלֵךְ בַּת־גַּלִּים הַקְשִׁיבִי לַיְשָׁה עֲנִיָּה עֲנָתֽוֹת׃ | 30 |
Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu! Ggwe Layisa wuliriza! Ng’olabye Anasosi!
נָֽדְדָה מַדְמֵנָה יֹשְׁבֵי הַגֵּבִים הֵעִֽיזוּ׃ | 31 |
Madumena adduse, abantu b’e Gebimu beekukumye.
עוֹד הַיּוֹם בְּנֹב לַעֲמֹד יְנֹפֵף יָדוֹ הַר (בית) [בַּת־]צִיּוֹן גִּבְעַת יְרֽוּשָׁלָֽ͏ִם׃ | 32 |
Olwa leero bajja kusibira Nobu, balyolekeza ekikonde kyabwe eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni, akasozi ka Yerusaalemi.
הִנֵּה הָאָדוֹן יְהֹוָה צְבָאוֹת מְסָעֵף פֻּארָה בְּמַעֲרָצָה וְרָמֵי הַקּוֹמָה גְּדוּעִים וְהַגְּבֹהִים יִשְׁפָּֽלוּ׃ | 33 |
Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, alitema amatabi n’entiisa n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala, n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa.
וְנִקַּף סִֽבְכֵי הַיַּעַר בַּבַּרְזֶל וְהַלְּבָנוֹן בְּאַדִּיר יִפּֽוֹל׃ | 34 |
Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira; Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.