< עזרא 8 >

וְאֵלֶּה רָאשֵׁי אֲבֹתֵיהֶם וְהִתְיַחְשָׂם הָעֹלִים עִמִּי בְּמַלְכוּת אַרְתַּחְשַׁסְתְּא הַמֶּלֶךְ מִבָּבֶֽל׃ 1
Bano be bakulu b’ennyumba, n’abo abeewandiisa n’abo abaayambuka nange okuva e Babulooni mu mulembe gwa kabaka Alutagizerugizi:
מִבְּנֵי פִֽינְחָס גֵּֽרְשֹׁם מִבְּנֵי אִיתָמָר דָּנִיֵּאל מִבְּנֵי דָוִיד חַטּֽוּשׁ׃ 2
okuva mu bazzukulu ba Finekaasi, Gerusomu; n’okuva mu bazzukulu ba Isamaali, Danyeri; n’okuva mu bazzukulu ba Dawudi, Kattusi
מִבְּנֵי שְׁכַנְיָה מִבְּנֵי פַרְעֹשׁ זְכַרְיָה וְעִמּוֹ הִתְיַחֵשׂ לִזְכָרִים מֵאָה וַחֲמִשִּֽׁים׃ 3
muzzukulu wa Sekaniya, n’okuva mu bazzukulu ba Palosi, Zekkaliya, era wamu naye abasajja abeewandiisa kikumi mu ataano;
מִבְּנֵי פַּחַת מוֹאָב אֶלְיְהֽוֹעֵינַי בֶּן־זְרַֽחְיָה וְעִמּוֹ מָאתַיִם הַזְּכָרִֽים׃ 4
n’okuva mu bazzukulu ba Pakasumowaabu, Eriwenayi mutabani wa Zekkaliya, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri;
מִבְּנֵי שְׁכַנְיָה בֶּן־יַחֲזִיאֵל וְעִמּוֹ שְׁלֹשׁ מֵאוֹת הַזְּכָרִֽים׃ 5
n’okuva mu bazzukulu ba Sekaniya, mutabani wa Yakazyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bisatu;
וּמִבְּנֵי עָדִין עֶבֶד בֶּן־יוֹנָתָן וְעִמּוֹ חֲמִשִּׁים הַזְּכָרִֽים׃ 6
n’okuva mu bazzukulu ba Adini, Ebedi mutabani wa Yonasaani, era wamu naye abasajja amakumi ataano;
וּמִבְּנֵי עֵילָם יְשַֽׁעְיָה בֶּן־עֲתַלְיָה וְעִמּוֹ שִׁבְעִים הַזְּכָרִֽים׃ 7
n’okuva mu bazzukulu ba Eramu, Yesaya mutabani wa Asaliya, era wamu naye abasajja nsanvu;
וּמִבְּנֵי שְׁפַטְיָה זְבַדְיָה בֶּן־מִֽיכָאֵל וְעִמּוֹ שְׁמֹנִים הַזְּכָרִֽים׃ 8
n’okuva mu bazzukulu ba Sefatiya, Zebadiya mutabani wa Mikayiri, era wamu naye abasajja kinaana;
מִבְּנֵי יוֹאָב עֹבַדְיָה בֶּן־יְחִיאֵל וְעִמּוֹ מָאתַיִם וּשְׁמֹנָה עָשָׂר הַזְּכָרִֽים׃ 9
n’okuva mu bazzukulu ba Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yekyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana;
וּמִבְּנֵי שְׁלוֹמִית בֶּן־יוֹסִפְיָה וְעִמּוֹ מֵאָה וְשִׁשִּׁים הַזְּכָרִֽים׃ 10
n’okuva mu bazzukulu ba Seromisi, mutabani wa Yosifiya, era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga;
וּמִבְּנֵי בֵבַי זְכַרְיָה בֶּן־בֵּבָי וְעִמּוֹ עֶשְׂרִים וּשְׁמֹנָה הַזְּכָרִֽים׃ 11
n’okuva mu bazzukulu ba Bebayi, Zekkaliya mutabani wa Bebayi, era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana;
וּמִבְּנֵי עַזְגָּד יוֹחָנָן בֶּן־הַקָּטָן וְעִמּוֹ מֵאָה וַעֲשָׂרָה הַזְּכָרִֽים׃ 12
n’okuva mu bazzukulu ba Azugadi, Yokanaani mutabani wa Kakkatani, era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi;
וּמִבְּנֵי אֲדֹנִיקָם אַחֲרֹנִים וְאֵלֶּה שְׁמוֹתָם אֱלִיפֶלֶט יְעִיאֵל וּֽשְׁמַעְיָה וְעִמָּהֶם שִׁשִּׁים הַזְּכָרִֽים׃ 13
n’okuva mu bazzukulu ba Adonikamu, abajja oluvannyuma, Erifereti, ne Yeyeri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga;
וּמִבְּנֵי בִגְוַי עוּתַי (וזבוד) [וְזַכּוּר] וְעִמּוֹ שִׁבְעִים הַזְּכָרִֽים׃ 14
n’okuva mu bazzukulu ba Biguvaayi, Usayi ne Zabudi, era wamu nabo abasajja nsanvu.
וָֽאֶקְבְּצֵם אֶל־הַנָּהָר הַבָּא אֶֽל־אַהֲוָא וַנַּחֲנֶה שָׁם יָמִים שְׁלֹשָׁה וָאָבִינָה בָעָם וּבַכֹּהֲנִים וּמִבְּנֵי לֵוִי לֹא־מָצָאתִי שָֽׁם׃ 15
Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogukulukutira e Yakava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Awo bwe nnali nga nneekebejja abantu ne bakabona, ne sirabamu Baleevi.
וָאֶשְׁלְחָה לֶאֱלִיעֶזֶר לַאֲרִיאֵל לִֽשְׁמַעְיָה וּלְאֶלְנָתָן וּלְיָרִיב וּלְאֶלְנָתָן וּלְנָתָן וְלִזְכַרְיָה וְלִמְשֻׁלָּם רָאשִׁים וּלְיוֹיָרִיב וּלְאֶלְנָתָן מְבִינִֽים׃ 16
Kyennava ntumya Eryeza ne Alyeri ne Semaaya ne Erunasani ne Yalibu ne Erunasani ne Nasani ne Zekkaliya ne Mesullamu, abaali abakulembeze ne Yoyalibu ne Erunasani, abaali abategeevu,
(ואוצאה) [וָאֲצַוֶּה] אוֹתָם עַל־אִדּוֹ הָרֹאשׁ בְּכָסִפְיָא הַמָּקוֹם וָאָשִׂימָה בְּפִיהֶם דְּבָרִים לְדַבֵּר אֶל־אִדּוֹ אָחִיו (הנתונים) [הַנְּתִינִים] בְּכָסִפְיָא הַמָּקוֹם לְהָֽבִיא־לָנוּ מְשָׁרְתִים לְבֵית אֱלֹהֵֽינוּ׃ 17
ne mbatuma eri Iddo omukulu w’ekifo eky’e Kasifiya, ne mbategeeza bye baba bagamba Iddo ne baganda be, abaaweerezanga mu yeekaalu mu kifo ekyo eky’e Kasifiya, batuuweereze abaweereza abaliyamba mu nnyumba ya Katonda waffe.
וַיָּבִיאּוּ לָנוּ כְּיַד־אֱלֹהֵינוּ הַטּוֹבָה עָלֵינוּ אִישׁ שֶׂכֶל מִבְּנֵי מַחְלִי בֶּן־לֵוִי בֶּן־יִשְׂרָאֵל וְשֵׁרֵבְיָה וּבָנָיו וְאֶחָיו שְׁמֹנָה עָשָֽׂר׃ 18
Olw’omukono gwa Katonda ogwali awamu naffe, ne batuleetera omusajja omutegeevu, omu ku bazzukulu ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isirayiri, erinnya lye Serebiya, wamu ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja kkumi na munaana;
וְאֶת־חֲשַׁבְיָה וְאִתּוֹ יְשַֽׁעְיָה מִבְּנֵי מְרָרִי אֶחָיו וּבְנֵיהֶם עֶשְׂרִֽים׃ 19
ne Kasabiya, wamu naye Yesaya omu ku bazzukulu ba Merali, ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja amakumi abiri.
וּמִן־הַנְּתִינִים שֶׁנָּתַן דָּוִיד וְהַשָּׂרִים לַעֲבֹדַת הַלְוִיִּם נְתִינִים מָאתַיִם וְעֶשְׂרִים כֻּלָּם נִקְּבוּ בְשֵׁמֽוֹת׃ 20
Ate era ne baleeta n’abaweereza ba yeekaalu Dawudi n’abakungu be baalonda okubeeranga Abaleevi ebikumi bibiri mu abiri. Bonna baali beewandiisizza.
וָאֶקְרָא שָׁם צוֹם עַל־הַנָּהָר אַהֲוָא לְהִתְעַנּוֹת לִפְנֵי אֱלֹהֵינוּ לְבַקֵּשׁ מִמֶּנּוּ דֶּרֶךְ יְשָׁרָה לָנוּ וּלְטַפֵּנוּ וּלְכׇל־רְכוּשֵֽׁנוּ׃ 21
Awo ku mugga Akava, ne nangirira okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, nga tumwegayirira okubeera awamu naffe n’abaana baffe n’ebintu byaffe byonna mu lugendo lwaffe.
כִּי בֹשְׁתִּי לִשְׁאוֹל מִן־הַמֶּלֶךְ חַיִל וּפָרָשִׁים לְעׇזְרֵנוּ מֵאוֹיֵב בַּדָּרֶךְ כִּֽי־אָמַרְנוּ לַמֶּלֶךְ לֵאמֹר יַד־אֱלֹהֵינוּ עַל־כׇּל־מְבַקְשָׁיו לְטוֹבָה וְעֻזּוֹ וְאַפּוֹ עַל כׇּל־עֹזְבָֽיו׃ 22
Nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka abaserikale abakuumi ab’ebigere n’abeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe, kubanga twali tumutegeezeza nti, “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku buli muntu amunoonya, naye obusungu bwe bubeera ku abo abamujeemera.”
וַנָּצוּמָה וַנְּבַקְשָׁה מֵאֱלֹהֵינוּ עַל־זֹאת וַיֵּעָתֵר לָֽנוּ׃ 23
Kyetwava tusiiba ne twegayirira Katonda waffe ku nsonga eyo, era n’addamu okusaba kwaffe.
וָאַבְדִּילָה מִשָּׂרֵי הַכֹּהֲנִים שְׁנֵים עָשָׂר לְשֵׁרֵֽבְיָה חֲשַׁבְיָה וְעִמָּהֶם מֵאֲחֵיהֶם עֲשָׂרָֽה׃ 24
Awo ne nonda Serebiya ne Kasabiya ne baganda baabwe abalala kkumi, be bantu kkumi na babiri okuva mu bakabona abakulu,
(ואשקולה) [וָאֶשְׁקֳלָה] לָהֶם אֶת־הַכֶּסֶף וְאֶת־הַזָּהָב וְאֶת־הַכֵּלִים תְּרוּמַת בֵּית־אֱלֹהֵינוּ הַהֵרִימוּ הַמֶּלֶךְ וְיֹעֲצָיו וְשָׂרָיו וְכׇל־יִשְׂרָאֵל הַנִּמְצָאִֽים׃ 25
ne mbapimira ffeeza ne zaabu n’ebintu kabaka, n’abaami be, n’abakungu be, ne Isirayiri yenna, bye baawaayo ku lw’ennyumba ya Katonda waffe.
וָאֶשְׁקְלָה עַל־יָדָם כֶּסֶף כִּכָּרִים שֵֽׁשׁ־מֵאוֹת וַחֲמִשִּׁים וּכְלֵי־כֶסֶף מֵאָה לְכִכָּרִים זָהָב מֵאָה כִכָּֽר׃ 26
Ne mbagererera ttani amakumi abiri mu ttaano eza ffeeza, n’ebintu ebya ffeeza obuzito bwabyo ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, ne zaabu ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna,
וּכְפֹרֵי זָהָב עֶשְׂרִים לַאֲדַרְכֹנִים אָלֶף וּכְלֵי נְחֹשֶׁת מֻצְהָב טוֹבָה שְׁנַיִם חֲמוּדֹת כַּזָּהָֽב׃ 27
ne kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebitundu bibiri eby’ekikomo ebirungi ebizigule, eby’omuwendo nga zaabu.
וָאֹמְרָה אֲלֵהֶם אַתֶּם קֹדֶשׁ לַיהֹוָה וְהַכֵּלִים קֹדֶשׁ וְהַכֶּסֶף וְהַזָּהָב נְדָבָה לַיהֹוָה אֱלֹהֵי אֲבֹתֵיכֶֽם׃ 28
Ne mbategeeza nti, “Muli batukuvu eri Mukama, n’ebintu bino bitukuvu eri Mukama. Effeeza ne zaabu biweebwayo kyeyagalire eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe.
שִׁקְדוּ וְשִׁמְרוּ עַֽד־תִּשְׁקְלוּ לִפְנֵי שָׂרֵי הַכֹּהֲנִים וְהַלְוִיִּם וְשָׂרֵֽי־הָאָבוֹת לְיִשְׂרָאֵל בִּירוּשָׁלָ͏ִם הַלִּשְׁכוֹת בֵּית יְהֹוָֽה׃ 29
Mubikuume bulungi era mubituuse bulungi eri bakabona abakulu n’Abaleevi, n’abakulu b’ennyumba za Isirayiri.”
וְקִבְּלוּ הַכֹּהֲנִים וְהַלְוִיִּם מִשְׁקַל הַכֶּסֶף וְהַזָּהָב וְהַכֵּלִים לְהָבִיא לִירוּשָׁלַ͏ִם לְבֵית אֱלֹהֵֽינוּ׃ 30
Awo bakabona n’Abaleevi ne baweebwa effeeza ne zaabu, n’ebintu ebyawongebwa, ebyali bipimiddwa, okubitwala mu nnyumba ya Katonda waffe e Yerusaalemi.
וַֽנִּסְּעָה מִנְּהַר אַֽהֲוָא בִּשְׁנֵים עָשָׂר לַחֹדֶשׁ הָרִאשׁוֹן לָלֶכֶת יְרוּשָׁלָ͏ִם וְיַד־אֱלֹהֵינוּ הָיְתָה עָלֵינוּ וַיַּצִּילֵנוּ מִכַּף אוֹיֵב וְאוֹרֵב עַל־הַדָּֽרֶךְ׃ 31
Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri olw’omwezi ogw’olubereberye ne tusitula okuva ku mugga Akava okugenda e Yerusaalemi. Omukono gwa Katonda waffe ne gubeera wamu naffe, n’atukuuma eri abalabe n’abanyazi mu kkubo.
וַנָּבוֹא יְרוּשָׁלָ͏ִם וַנֵּשֶׁב שָׁם יָמִים שְׁלֹשָֽׁה׃ 32
Ne tutuuka e Yerusaalemi gye twawumulira okumala ennaku ssatu.
וּבַיּוֹם הָרְבִיעִי נִשְׁקַל הַכֶּסֶף וְהַזָּהָב וְהַכֵּלִים בְּבֵית אֱלֹהֵינוּ עַל יַד־מְרֵמוֹת בֶּן־אֽוּרִיָּה הַכֹּהֵן וְעִמּוֹ אֶלְעָזָר בֶּן־פִּֽינְחָס וְעִמָּהֶם יוֹזָבָד בֶּן־יֵשׁוּעַ וְנֽוֹעַדְיָה בֶן־בִּנּוּי הַלְוִיִּֽם׃ 33
Awo ku lunaku olwokuna, nga tuli mu nnyumba ya Katonda waffe, ne tupima ffeeza ne zaabu n’ebintu ebyawongebwa ne tubikwasa Meremoosi kabona, mutabani wa Uliya, ne Eriyazaali mutabani wa Finekaasi eyali awamu naye, ne Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi.
בְּמִסְפָּר בְּמִשְׁקָל לַכֹּל וַיִּכָּתֵב כׇּֽל־הַמִּשְׁקָל בָּעֵת הַהִֽיא׃ 34
Byonna ne bibalibwa ng’omuwendo gwabyo bwe gwali n’obuzito bwabyo bwe bwali era ne biwandiikibwa.
הַבָּאִים מֵֽהַשְּׁבִי בְנֵֽי־הַגּוֹלָה הִקְרִיבוּ עֹלוֹת ׀ לֵאלֹהֵי יִשְׂרָאֵל פָּרִים שְׁנֵים־עָשָׂר עַל־כׇּל־יִשְׂרָאֵל אֵילִים ׀ תִּשְׁעִים וְשִׁשָּׁה כְּבָשִׂים שִׁבְעִים וְשִׁבְעָה צְפִירֵי חַטָּאת שְׁנֵים עָשָׂר הַכֹּל עוֹלָה לַיהֹוָֽה׃ 35
Mu kiseera ekyo abaawaŋŋangusibwa, abakomawo okuva mu busibe, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isirayiri: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Isirayiri yenna, n’endiga ennume kyenda mu mukaaga, n’obuliga obuto nga bulume nsanvu mu musanvu, n’embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw’ekibi, ebyo byonna ne biba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.
וַֽיִּתְּנוּ ׀ אֶת־דָּתֵי הַמֶּלֶךְ לַאֲחַשְׁדַּרְפְּנֵי הַמֶּלֶךְ וּפַחֲווֹת עֵבֶר הַנָּהָר וְנִשְּׂאוּ אֶת־הָעָם וְאֶת־בֵּית הָאֱלֹהִֽים׃ 36
Ate era ne batuusa n’ebiragiro bya kabaka eri bagavana n’abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati, abafuzi abo ne bayamba abantu ne bawaayo n’obuyambi eri ennyumba ya Katonda.

< עזרא 8 >