< יחזקאל 31 >

וַיְהִי בְּאַחַת עֶשְׂרֵה שָׁנָה בַּשְּׁלִישִׁי בְּאֶחָד לַחֹדֶשׁ הָיָה דְבַר־יְהֹוָה אֵלַי לֵאמֹֽר׃ 1
Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogwokusatu ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
בֶּן־אָדָם אֱמֹר אֶל־פַּרְעֹה מֶלֶךְ־מִצְרַיִם וְאֶל־הֲמוֹנוֹ אֶל־מִי דָּמִיתָ בְגׇדְלֶֽךָ׃ 2
“Omwana w’omuntu, tegeeza Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’olufulube lw’abantu be nti, “‘Ani ayinza okwegeraageranya naawe mu kitiibwa?
הִנֵּה אַשּׁוּר אֶרֶז בַּלְּבָנוֹן יְפֵה עָנָף וְחֹרֶשׁ מֵצַל וּגְבַהּ קוֹמָה וּבֵין עֲבֹתִים הָיְתָה צַמַּרְתּֽוֹ׃ 3
Tunuulira Obwasuli, ogwali omuvule mu Lebanooni, nga gulina amatabi amalungi agaasiikirizanga ekibira; ogwali omuwanvu ennyo, nga guyitamu ne mu kasolya ak’ekibira.
מַיִם גִּדְּלוּהוּ תְּהוֹם רֹמְמָתְהוּ אֶת־נַהֲרֹתֶיהָ הֹלֵךְ סְבִיבוֹת מַטָּעָהּ וְאֶת־תְּעָלֹתֶיהָ שִׁלְחָה אֶל כׇּל־עֲצֵי הַשָּׂדֶֽה׃ 4
Amazzi gaaguliisanga, n’enzizi ezikka wansi ennyo ne ziguwanvuya, n’emigga gyagyo ne gigwetooloola wonna, ne giweerezanga n’amatabi gaagyo eri emiti gyonna egy’omu ttale.
עַל־כֵּן גָּבְהָא קֹמָתוֹ מִכֹּל עֲצֵי הַשָּׂדֶה וַתִּרְבֶּינָה סַֽרְעַפֹּתָיו וַתֶּאֱרַכְנָה פֹארֹתָו מִמַּיִם רַבִּים בְּשַׁלְּחֽוֹ׃ 5
Kyegwava gukula ne guwanvuwa okusinga emiti gyonna egy’omu kibira, n’amatabi gaagwo amanene ne geeyongera obunene, n’amatabi gaagwo amatono ne gawanvuwa ne gasaasaana olw’obungi bw’amazzi.
בִּסְעַפֹּתָיו קִֽנְנוּ כׇּל־עוֹף הַשָּׁמַיִם וְתַחַת פֹּֽארֹתָיו יָֽלְדוּ כֹּל חַיַּת הַשָּׂדֶה וּבְצִלּוֹ יֵֽשְׁבוּ כֹּל גּוֹיִם רַבִּֽים׃ 6
Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene, n’ensolo enkambwe ez’oku ttale ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo, n’amawanga gonna amakulu ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.
וַיְּיִף בְּגׇדְלוֹ בְּאֹרֶךְ דָּלִיּוֹתָיו כִּֽי־הָיָה שׇׁרְשׁוֹ אֶל־מַיִם רַבִּֽים׃ 7
Gwali gwa kitalo mu bulungi bwagwo, n’amatabi gaagwo amanene, kubanga emirandira gyagwo gyasima awali amazzi amangi.
אֲרָזִים לֹֽא־עֲמָמֻהוּ בְּגַן־אֱלֹהִים בְּרוֹשִׁים לֹא דָמוּ אֶל־סְעַפֹּתָיו וְעַרְמֹנִים לֹא־הָיוּ כְּפֹרֹאתָיו כׇּל־עֵץ בְּגַן־אֱלֹהִים לֹא־דָמָה אֵלָיו בְּיׇפְיֽוֹ׃ 8
Emivule egyali mu nnimiro ya Katonda tegyayinza kuguvuganya, newaakubadde emiberoosi okwenkana n’amatabi gaagwo amanene; n’emyalamooni nga tegifaanana matabi gaagwo amatono, so nga tewali muti mu nnimiro ya Katonda ogugwenkana mu bulungi.
יָפֶה עֲשִׂיתִיו בְּרֹב דָּלִיּוֹתָיו וַיְקַנְאֻהוּ כׇּל־עֲצֵי־עֵדֶן אֲשֶׁר בְּגַן הָאֱלֹהִֽים׃ 9
Nagulungiya n’amatabi amangi, emiti gyonna egy’omu Adeni egyali mu nnimiro ya Katonda ne gigukwatirwa obuggya.
לָכֵן כֹּה אָמַר אֲדֹנָי יֱהֹוִה יַעַן אֲשֶׁר גָּבַהְתָּ בְּקוֹמָה וַיִּתֵּן צַמַּרְתּוֹ אֶל־בֵּין עֲבוֹתִים וְרָם לְבָבוֹ בְּגׇבְהֽוֹ׃ 10
“‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo,
וְאֶתְּנֵהוּ בְּיַד אֵיל גּוֹיִם עָשׂוֹ יַֽעֲשֶׂה לוֹ כְּרִשְׁעוֹ גֵּרַשְׁתִּֽהוּ׃ 11
kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye.
וַיִּכְרְתֻהוּ זָרִים עָרִיצֵי גוֹיִם וַֽיִּטְּשֻׁהוּ אֶל־הֶהָרִים וּבְכׇל־גֵּאָיוֹת נָפְלוּ דָלִיּוֹתָיו וַתִּשָּׁבַרְנָה פֹֽרֹאתָיו בְּכֹל אֲפִיקֵי הָאָרֶץ וַיֵּרְדוּ מִצִּלּוֹ כׇּל־עַמֵּי הָאָרֶץ וַֽיִּטְּשֻֽׁהוּ׃ 12
Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo.
עַל־מַפַּלְתּוֹ יִשְׁכְּנוּ כׇּל־עוֹף הַשָּׁמָיִם וְאֶל־פֹּרֹאתָיו הָיוּ כֹּל חַיַּת הַשָּׂדֶֽה׃ 13
Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo.
לְמַעַן אֲשֶׁר לֹא־יִגְבְּהוּ בְקוֹמָתָם כׇּל־עֲצֵי־מַיִם וְלֹֽא־יִתְּנוּ אֶת־צַמַּרְתָּם אֶל־בֵּין עֲבֹתִים וְלֹֽא־יַעַמְדוּ אֵלֵיהֶם בְּגׇבְהָם כׇּל־שֹׁתֵי מָיִם כִּֽי־כֻלָּם נִתְּנוּ לַמָּוֶת אֶל־אֶרֶץ תַּחְתִּית בְּתוֹךְ בְּנֵי אָדָם אֶל־יוֹרְדֵי בֽוֹר׃ 14
Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya.
כֹּֽה־אָמַר אֲדֹנָי יֱהֹוִה בְּיוֹם רִדְתּוֹ שְׁאוֹלָה הֶאֱבַלְתִּי כִּסֵּתִי עָלָיו אֶת־תְּהוֹם וָֽאֶמְנַע נַהֲרוֹתֶיהָ וַיִּכָּלְאוּ מַיִם רַבִּים וָאַקְדִּר עָלָיו לְבָנוֹן וְכׇל־עֲצֵי הַשָּׂדֶה עָלָיו עֻלְפֶּֽה׃ (Sheol h7585) 15
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. (Sheol h7585)
מִקּוֹל מַפַּלְתּוֹ הִרְעַשְׁתִּי גוֹיִם בְּהוֹרִדִי אֹתוֹ שְׁאוֹלָה אֶת־יוֹרְדֵי בוֹר וַיִּנָּחֲמוּ בְּאֶרֶץ תַּחְתִּית כׇּל־עֲצֵי־עֵדֶן מִבְחַר וְטוֹב־לְבָנוֹן כׇּל־שֹׁתֵי מָֽיִם׃ (Sheol h7585) 16
Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. (Sheol h7585)
גַּם־הֵם אִתּוֹ יָרְדוּ שְׁאוֹלָה אֶל־חַלְלֵי־חָרֶב וּזְרֹעוֹ יָשְׁבוּ בְצִלּוֹ בְּתוֹךְ גּוֹיִֽם׃ (Sheol h7585) 17
Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala. (Sheol h7585)
אֶל־מִי דָמִיתָ כָּכָה בְּכָבוֹד וּבְגֹדֶל בַּעֲצֵי־עֵדֶן וְהוּרַדְתָּ אֶת־עֲצֵי־עֵדֶן אֶל־אֶרֶץ תַּחְתִּית בְּתוֹךְ עֲרֵלִים תִּשְׁכַּב אֶת־חַלְלֵי־חֶרֶב הוּא פַרְעֹה וְכׇל־הֲמוֹנֹה נְאֻם אֲדֹנָי יֱהֹוִֽה׃ 18
“‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala. “‘Ono ye Falaawo n’ekibinja kye kyonna, bw’ayogera Mukama Katonda.’”

< יחזקאל 31 >