< שמות 36 >

וְעָשָׂה בְצַלְאֵל וְאׇהֳלִיאָב וְכֹל ׀ אִישׁ חֲכַם־לֵב אֲשֶׁר נָתַן יְהֹוָה חׇכְמָה וּתְבוּנָה בָּהֵמָּה לָדַעַת לַעֲשֹׂת אֶֽת־כׇּל־מְלֶאכֶת עֲבֹדַת הַקֹּדֶשׁ לְכֹל אֲשֶׁר־צִוָּה יְהֹוָֽה׃ 1
“Bezaaleeri ne Okoliyaabu ne buli musajja mukugu yenna, Mukama gw’awadde obusobozi n’amagezi okumanya okukola omulimu gwonna ku kuzimba eweema ya Mukama, bajja kukola nga Mukama bw’alagidde.”
וַיִּקְרָא מֹשֶׁה אֶל־בְּצַלְאֵל וְאֶל־אׇֽהֳלִיאָב וְאֶל כׇּל־אִישׁ חֲכַם־לֵב אֲשֶׁר נָתַן יְהֹוָה חׇכְמָה בְּלִבּוֹ כֹּל אֲשֶׁר נְשָׂאוֹ לִבּוֹ לְקׇרְבָה אֶל־הַמְּלָאכָה לַעֲשֹׂת אֹתָֽהּ׃ 2
Awo Musa n’ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, ne buli mukugu yenna Mukama gwe yali awadde amagezi n’obusobozi, era nga yeeyagalidde yekka okukola.
וַיִּקְחוּ מִלִּפְנֵי מֹשֶׁה אֵת כׇּל־הַתְּרוּמָה אֲשֶׁר הֵבִיאוּ בְּנֵי יִשְׂרָאֵל לִמְלֶאכֶת עֲבֹדַת הַקֹּדֶשׁ לַעֲשֹׂת אֹתָהּ וְהֵם הֵבִיאוּ אֵלָיו עוֹד נְדָבָה בַּבֹּקֶר בַּבֹּֽקֶר׃ 3
Musa n’abakwasa ebirabo byonna abaana ba Isirayiri bye baali batonedde Mukama nga bwe baali beeyagalidde eby’okukozesa eweema ya Mukama. Abantu ne bongera okuleeta ku byabwe ebya kyeyagalire buli nkya.
וַיָּבֹאוּ כׇּל־הַחֲכָמִים הָעֹשִׂים אֵת כׇּל־מְלֶאכֶת הַקֹּדֶשׁ אִֽישׁ־אִישׁ מִמְּלַאכְתּוֹ אֲשֶׁר־הֵמָּה עֹשִֽׂים׃ 4
Awo abakozi bali abakugu abaali bakola eweema ya Mukama ne bava ku mirimu gyabwe,
וַיֹּאמְרוּ אֶל־מֹשֶׁה לֵּאמֹר מַרְבִּים הָעָם לְהָבִיא מִדֵּי הָֽעֲבֹדָה לַמְּלָאכָה אֲשֶׁר־צִוָּה יְהֹוָה לַעֲשֹׂת אֹתָֽהּ׃ 5
ne bajja eri Musa ne bamugamba nti, “Ebirabo abantu bye baleese bisukkiridde obungi ku ebyo ebyetaagibwa okumala omulimu Mukama gwe yalagira okukolebwa.”
וַיְצַו מֹשֶׁה וַיַּעֲבִירוּ קוֹל בַּֽמַּחֲנֶה לֵאמֹר אִישׁ וְאִשָּׁה אַל־יַעֲשׂוּ־עוֹד מְלָאכָה לִתְרוּמַת הַקֹּדֶשׁ וַיִּכָּלֵא הָעָם מֵהָבִֽיא׃ 6
Awo Musa n’awa ekiragiro ne kibunyisibwa mu lusiisira lwonna nti, “Tewabaawo musajja oba mukazi ayongera okuleeta ekiweebwayo olw’omulimu gw’Eweema ya Mukama.” Bwe batyo abantu ne bagaanibwa okwongera okuwaayo;
וְהַמְּלָאכָה הָיְתָה דַיָּם לְכׇל־הַמְּלָאכָה לַעֲשׂוֹת אֹתָהּ וְהוֹתֵֽר׃ 7
kubanga ebyo abakozi bye baalina byali bimala omulimu ogwo era n’okufikkawo.
וַיַּעֲשׂוּ כׇל־חֲכַם־לֵב בְּעֹשֵׂי הַמְּלָאכָה אֶת־הַמִּשְׁכָּן עֶשֶׂר יְרִיעֹת שֵׁשׁ מׇשְׁזָר וּתְכֵלֶת וְאַרְגָּמָן וְתוֹלַעַת שָׁנִי כְּרֻבִים מַעֲשֵׂה חֹשֵׁב עָשָׂה אֹתָֽם׃ 8
Awo bannakinku bonna mu basajja abakozi ne bakola Eweema ya Mukama n’emitanda kkumi egya linena omunyoole omulungi ennyo, nga mulimu n’ebya bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne bakerubi nga batungiddwamu n’amagezi mangi.
אֹרֶךְ הַיְרִיעָה הָֽאַחַת שְׁמֹנֶה וְעֶשְׂרִים בָּֽאַמָּה וְרֹחַב אַרְבַּע בָּֽאַמָּה הַיְרִיעָה הָאֶחָת מִדָּה אַחַת לְכׇל־הַיְרִיעֹֽת׃ 9
Emitanda gyonna gyali gyenkanankana; ng’omutanda ogumu guweza obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, ate obugazi mita emu ne desimoolo munaana.
וַיְחַבֵּר אֶת־חֲמֵשׁ הַיְרִיעֹת אַחַת אֶל־אֶחָת וְחָמֵשׁ יְרִיעֹת חִבַּר אַחַת אֶל־אֶחָֽת׃ 10
Baagatta emitanda etaano nga bagisengese, gumu ku gunnaagwo, n’emitanda emirala etaano nagyo ne bagigatta bwe batyo.
וַיַּעַשׂ לֻֽלְאֹת תְּכֵלֶת עַל שְׂפַת הַיְרִיעָה הָֽאֶחָת מִקָּצָה בַּמַּחְבָּרֶת כֵּן עָשָׂה בִּשְׂפַת הַיְרִיעָה הַקִּיצוֹנָה בַּמַּחְבֶּרֶת הַשֵּׁנִֽית׃ 11
Ne batunga eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe etaano, era ne batunga n’eŋŋango endala mu ngeri y’emu ku ludda olulala.
חֲמִשִּׁים לֻלָאֹת עָשָׂה בַּיְרִיעָה הָאֶחָת וַחֲמִשִּׁים לֻלָאֹת עָשָׂה בִּקְצֵה הַיְרִיעָה אֲשֶׁר בַּמַּחְבֶּרֶת הַשֵּׁנִית מַקְבִּילֹת הַלֻּלָאֹת אַחַת אֶל־אֶחָֽת׃ 12
Baatunga eŋŋango amakumi ataano ku mutanda ogumu, era ne batunga eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda ku ludda olulala, eŋŋango nga zoolekaganye.
וַיַּעַשׂ חֲמִשִּׁים קַרְסֵי זָהָב וַיְחַבֵּר אֶת־הַיְרִיעֹת אַחַת אֶל־אַחַת בַּקְּרָסִים וַֽיְהִי הַמִּשְׁכָּן אֶחָֽד׃ 13
Ne bakola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, ne bakwasa wamu enjuuyi zombi ez’emitanda n’ebikwaso; Eweema n’ebeera wamu nga nnamba.
וַיַּעַשׂ יְרִיעֹת עִזִּים לְאֹהֶל עַל־הַמִּשְׁכָּן עַשְׁתֵּֽי־עֶשְׂרֵה יְרִיעֹת עָשָׂה אֹתָֽם׃ 14
Ne bakola entimbe kkumi na lumu nga zirukiddwa mu bwoya bw’embuzi ne bazibikka ku Weema.
אֹרֶךְ הַיְרִיעָה הָאַחַת שְׁלֹשִׁים בָּֽאַמָּה וְאַרְבַּע אַמּוֹת רֹחַב הַיְרִיעָה הָאֶחָת מִדָּה אַחַת לְעַשְׁתֵּי עֶשְׂרֵה יְרִיעֹֽת׃ 15
Entimbe zonna ekkumi n’olumu zaali zenkanankana: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, obugazi zaali mita emu n’obutundu munaana.
וַיְחַבֵּר אֶת־חֲמֵשׁ הַיְרִיעֹת לְבָד וְאֶת־שֵׁשׁ הַיְרִיעֹת לְבָֽד׃ 16
Ne bagatta entimbe ttaano wamu ku bwazo, n’entimbe omukaaga nazo ne bazigatta ku bwazo.
וַיַּעַשׂ לֻֽלָאֹת חֲמִשִּׁים עַל שְׂפַת הַיְרִיעָה הַקִּיצֹנָה בַּמַּחְבָּרֶת וַחֲמִשִּׁים לֻלָאֹת עָשָׂה עַל־שְׂפַת הַיְרִיעָה הַחֹבֶרֶת הַשֵּׁנִֽית׃ 17
Ne batunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’entimbe ekomererayo ku bwazo, n’eŋŋango amakumi ataano endala ku mukugiro gw’entimbe omulala ku bwazo.
וַיַּעַשׂ קַרְסֵי נְחֹשֶׁת חֲמִשִּׁים לְחַבֵּר אֶת־הָאֹהֶל לִֽהְיֹת אֶחָֽד׃ 18
Ne bakola ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, ne babiyisa mu ŋŋango okunyweza enjuuyi zombi ez’entimbe ezo ng’ekintu ekimu.
וַיַּעַשׂ מִכְסֶה לָאֹהֶל עֹרֹת אֵילִם מְאׇדָּמִים וּמִכְסֵה עֹרֹת תְּחָשִׁים מִלְמָֽעְלָה׃ 19
Ne bakola ekibikka ku Weema mu maliba g’endiga ennume nga gannyikiddwa mu langi emyufu; okwo ne babikkako amaliba g’ente ey’omu nnyanja.
וַיַּעַשׂ אֶת־הַקְּרָשִׁים לַמִּשְׁכָּן עֲצֵי שִׁטִּים עֹמְדִֽים׃ 20
Awo ne babajja embaawo mu muti gwa akasiya ne baziyimiriza ne zikola entobo ya Weema.
עֶשֶׂר אַמֹּת אֹרֶךְ הַקָּרֶשׁ וְאַמָּה וַחֲצִי הָֽאַמָּה רֹחַב הַקֶּרֶשׁ הָאֶחָֽד׃ 21
Buli lubaawo lwali mita nnya n’ekitundu obuwanvu, ate ng’obugazi zaali sentimita nkaaga mu musanvu.
שְׁתֵּי יָדֹת לַקֶּרֶשׁ הָֽאֶחָד מְשֻׁלָּבֹת אַחַת אֶל־אֶחָת כֵּן עָשָׂה לְכֹל קַרְשֵׁי הַמִּשְׁכָּֽן׃ 22
Buli lubaawo baaluteekako obubaawo obuyiseemu bubiri, obw’okukozesa mu kugatta, nga bulekawo amabanga agenkanankana. Embaawo zonna ez’entobo ya Weema bwe baazikola bwe batyo.
וַיַּעַשׂ אֶת־הַקְּרָשִׁים לַמִּשְׁכָּן עֶשְׂרִים קְרָשִׁים לִפְאַת נֶגֶב תֵּימָֽנָה׃ 23
Baakola embaawo amakumi abiri ne bazissa ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema,
וְאַרְבָּעִים אַדְנֵי־כֶסֶף עָשָׂה תַּחַת עֶשְׂרִים הַקְּרָשִׁים שְׁנֵי אֲדָנִים תַּֽחַת־הַקֶּרֶשׁ הָאֶחָד לִשְׁתֵּי יְדֹתָיו וּשְׁנֵי אֲדָנִים תַּֽחַת־הַקֶּרֶשׁ הָאֶחָד לִשְׁתֵּי יְדֹתָֽיו׃ 24
era ne bakola obubya obutono obwa ffeeza amakumi ana, ne babussa wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo.
וּלְצֶלַע הַמִּשְׁכָּן הַשֵּׁנִית לִפְאַת צָפוֹן עָשָׂה עֶשְׂרִים קְרָשִֽׁים׃ 25
Ate ku ludda olw’obukiikakkono olw’Eweema ne bakolerayo embaawo amakumi abiri,
וְאַרְבָּעִים אַדְנֵיהֶם כָּסֶף שְׁנֵי אֲדָנִים תַּחַת הַקֶּרֶשׁ הָאֶחָד וּשְׁנֵי אֲדָנִים תַּחַת הַקֶּרֶשׁ הָאֶחָֽד׃ 26
n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri nga ziri wansi wa buli lubaawo.
וּֽלְיַרְכְּתֵי הַמִּשְׁכָּן יָמָּה עָשָׂה שִׁשָּׁה קְרָשִֽׁים׃ 27
Ne bakola embaawo mukaaga, ne baziteeka ku ludda olw’emabega wa Weema, lwe lw’ebugwanjuba;
וּשְׁנֵי קְרָשִׁים עָשָׂה לִמְקֻצְעֹת הַמִּשְׁכָּן בַּיַּרְכָתָֽיִם׃ 28
era ne bakola embaawo endala bbiri ne bazissa ku nsonda ez’oku ludda olwo olw’ebugwanjuba.
וְהָיוּ תוֹאֲמִם מִלְּמַטָּה וְיַחְדָּו יִהְיוּ תַמִּים אֶל־רֹאשׁוֹ אֶל־הַטַּבַּעַת הָאֶחָת כֵּן עָשָׂה לִשְׁנֵיהֶם לִשְׁנֵי הַמִּקְצֹעֹֽת׃ 29
Ku nsonda zino ebbiri, embaawo zombi baazisiba wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ne bazinyweza n’empeta.
וְהָיוּ שְׁמֹנָה קְרָשִׁים וְאַדְנֵיהֶם כֶּסֶף שִׁשָּׁה עָשָׂר אֲדָנִים שְׁנֵי אֲדָנִים שְׁנֵי אֲדָנִים תַּחַת הַקֶּרֶשׁ הָאֶחָֽד׃ 30
Noolwekyo waaliwo embaawo munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri bbiri.
וַיַּעַשׂ בְּרִיחֵי עֲצֵי שִׁטִּים חֲמִשָּׁה לְקַרְשֵׁי צֶֽלַע־הַמִּשְׁכָּן הָאֶחָֽת׃ 31
Ne bakola emikiikiro mu muti gwa akasiya. Emikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu,
וַחֲמִשָּׁה בְרִיחִם לְקַרְשֵׁי צֶֽלַע־הַמִּשְׁכָּן הַשֵּׁנִית וַחֲמִשָּׁה בְרִיחִם לְקַרְשֵׁי הַמִּשְׁכָּן לַיַּרְכָתַיִם יָֽמָּה׃ 32
n’emikiikiro etaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, n’emikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba.
וַיַּעַשׂ אֶת־הַבְּרִיחַ הַתִּיכֹן לִבְרֹחַ בְּתוֹךְ הַקְּרָשִׁים מִן־הַקָּצֶה אֶל־הַקָּצֶֽה׃ 33
Ne bassaayo omulabba nga guyita wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala.
וְֽאֶת־הַקְּרָשִׁים צִפָּה זָהָב וְאֶת־טַבְּעֹתָם עָשָׂה זָהָב בָּתִּים לַבְּרִיחִם וַיְצַף אֶת־הַבְּרִיחִם זָהָֽב׃ 34
Embaawo ne bazibikkako zaabu, era ne bakola empeta eza zaabu ne bazisibisa emikiikiro; n’emikiikiro nagyo ne bagibikkako zaabu.
וַיַּעַשׂ אֶת־הַפָּרֹכֶת תְּכֵלֶת וְאַרְגָּמָן וְתוֹלַעַת שָׁנִי וְשֵׁשׁ מׇשְׁזָר מַעֲשֵׂה חֹשֵׁב עָשָׂה אֹתָהּ כְּרֻבִֽים׃ 35
Baakola eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi alangiddwa; era omukozi omukugu n’atungiramu bakerubi.
וַיַּעַשׂ לָהּ אַרְבָּעָה עַמּוּדֵי שִׁטִּים וַיְצַפֵּם זָהָב וָוֵיהֶם זָהָב וַיִּצֹק לָהֶם אַרְבָּעָה אַדְנֵי־כָֽסֶף׃ 36
Ne baliwanika n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezaabajjibwa mu muti gwa akasiya, nga zibikkiddwako zaabu, era nga zisimbiddwa mu ntobo eza ffeeza.
וַיַּעַשׂ מָסָךְ לְפֶתַח הָאֹהֶל תְּכֵלֶת וְאַרְגָּמָן וְתוֹלַעַת שָׁנִי וְשֵׁשׁ מׇשְׁזָר מַעֲשֵׂה רֹקֵֽם׃ 37
Ne bakola olutimbe olw’omu mulyango gwa Weema mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu alangiddwa obulungi.
וְאֶת־עַמּוּדָיו חֲמִשָּׁה וְאֶת־וָוֵיהֶם וְצִפָּה רָאשֵׁיהֶם וַחֲשֻׁקֵיהֶם זָהָב וְאַדְנֵיהֶם חֲמִשָּׁה נְחֹֽשֶׁת׃ 38
Ne balukolera empagi ttaano nga bazibazze mu muti gwa akasiya, ne baziteekako n’amalobo gaazo. Ne babikka zaabu kungulu ku mpagi ne ku bisiba byazo. Entobo zaazo ettaano ne bazikola mu kikomo.

< שמות 36 >