< צפניה 1 >
דבר יהוה אשר היה אל צפניה בן כושי בן גדליה בן אמריה בן חזקיה--בימי יאשיהו בן אמון מלך יהודה | 1 |
Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.
אסף אסף כל מעל פני האדמה--נאם יהוה | 2 |
“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
אסף אדם ובהמה אסף עוף השמים ודגי הים והמכשלות את הרשעים והכרתי את האדם מעל פני האדמה--נאם יהוה | 3 |
“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo; ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebyennyanja; ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo; bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
ונטיתי ידי על יהודה ועל כל יושבי ירושלם והכרתי מן המקום הזה את שאר הבעל--את שם הכמרים עם הכהנים | 4 |
Ndigololera ku Yuda omukono gwange, era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali, bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,
ואת המשתחוים על הגגות לצבא השמים ואת המשתחוים הנשבעים ליהוה והנשבעים במלכם | 5 |
abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu ku nnyumba waggulu, ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama, ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,
ואת הנסוגים מאחרי יהוה ואשר לא בקשו את יהוה ולא דרשהו | 6 |
abo abadda emabega obutagoberera Mukama, wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.
הס מפני אדני יהוה כי קרוב יום יהוה כי הכין יהוה זבח הקדיש קראיו | 7 |
Siriikirira awali Mukama Katonda, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi. Mukama ategese ssaddaaka, era atukuzizza abagenyi be.
והיה ביום זבח יהוה ופקדתי על השרים ועל בני המלך--ועל כל הלבשים מלבוש נכרי | 8 |
Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama, ndibonereza abakungu n’abaana ba Kabaka, n’abo bonna abambadde ebyambalo ebitasaana.
ופקדתי על כל הדולג על המפתן--ביום ההוא הממלאים בית אדניהם חמס ומרמה | 9 |
Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko, n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.
והיה ביום ההוא נאם יהוה קול צעקה משער הדגים ויללה מן המשנה ושבר גדול מהגבעות | 10 |
Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja, okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri, n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.
הילילו ישבי המכתש כי נדמה כל עם כנען נכרתו כל נטילי כסף | 11 |
Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale; abasuubuzi bammwe bonna zibasanze, n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.
והיה בעת ההיא אחפש את ירושלם בנרות ופקדתי על האנשים הקפאים על שמריהם האמרים בלבבם לא ייטיב יהוה ולא ירע | 12 |
Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya, mbonereze abo bonna abalagajjavu abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa, abalowooza nti Mukama talibaako ne ky’akolawo.
והיה חילם למשסה ובתיהם לשממה ובנו בתים ולא ישבו ונטעו כרמים ולא ישתו את יינם | 13 |
Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe. Ne bwe balizimba ennyumba tebalizituulamu, era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo tebalinywa wayini wamu.
קרוב יום יהוה הגדול קרוב ומהר מאד קול יום יהוה מר צרח שם גבור | 14 |
Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi; ddala lunaatera okutuuka. Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi, n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
יום עברה היום ההוא יום צרה ומצוקה יום שאה ומשואה יום חשך ואפלה יום ענן וערפל | 15 |
Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku, lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira, olunaku olw’ekikome n’ekizikiza, olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
יום שופר ותרועה על הערים הבצרות ועל הפנות הגבהות | 16 |
olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo ku bibuga ebiriko ebigo n’eri eminaala emigulumivu.
והצרתי לאדם והלכו כעורים--כי ליהוה חטאו ושפך דמם כעפר ולחמם כגללים | 17 |
Ndireeta, obuyinike ku bantu, batambule ng’abazibe b’amaaso, kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama, omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu, n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.
גם כספם גם זהבם לא יוכל להצילם ביום עברת יהוה ובאש קנאתו תאכל כל הארץ כי כלה אך נבהלה יעשה את כל ישבי הארץ | 18 |
Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubataasa ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro gw’obuggya bwe, era alimalirawo ddala abo bonna abali mu nsi.