< זכריה 9 >
משא דבר יהוה בארץ חדרך ודמשק מנחתו כי ליהוה עין אדם וכל שבטי ישראל | 1 |
Ekigambo kya Katonda kyolekedde ensi ya Kadulaki era kirituuka e Ddamasiko. Kubanga abantu bonna n’ebika byonna ebya Isirayiri batunuulidde Mukama,
וגם חמת תגבל בה צר וצידון כי חכמה מאד | 2 |
era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo, ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
ותבן צר מצור לה ותצבר כסף כעפר וחרוץ כטיט חוצות | 3 |
Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu, ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.
הנה אדני יורשנה והכה בים חילה והיא באש תאכל | 4 |
Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo, alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja, era kiryokebwa omuliro.
תרא אשקלון ותירא ועזה ותחיל מאד ועקרון כי הביש מבטה ואבד מלך מעזה ואשקלון לא תשב | 5 |
Asukulooni bino kiribiraba ne kitya; ne Gaza bwe kityo kiribeera mu kulumwa okw’amaanyi. Era n’essuubi lya Ekuloni liriggwaawo; Gaza aliggyibwako kabaka we, ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
וישב ממזר באשדוד והכרתי גאון פלשתים | 6 |
Abagwira balitwala Asudodi, era n’amalala g’Abafirisuuti ndigamalawo.
והסרתי דמיו מפיו ושקציו מבין שניו ונשאר גם הוא לאלהינו והיה כאלף ביהודה ועקרון כיבוסי | 7 |
Era ndiggya omusaayi mu kamwa ke n’emmere ey’omuzizo okuva wakati mu mannyo ge. N’abo bonna abalisigalawo mu kyo baliba bantu ba Katonda waffe, balifuuka bakulembeze mu Yuda, ne Ekuloni kiriba nga Abayebusi.
וחניתי לביתי מצבה מעבר ומשב ולא יעבר עליהם עוד נגש כי עתה ראיתי בעיני | 8 |
Naye ndirwanirira ennyumba yange eri eggye eddumbaganyi, so tewaliba mulumbaganyi aliddayo kujooga bantu bange kubanga kaakano mbalabirira.
גילי מאד בת ציון הריעי בת ירושלם הנה מלכך יבוא לך צדיק ונושע הוא עני ורכב על חמור ועל עיר בן אתנות | 9 |
Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni: leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy’oli; mutuukirivu era muwanguzi; muwombeefu era yeebagadde endogoyi, endogoyi ento, omwana gw’endogoyi.
והכרתי רכב מאפרים וסוס מירושלם ונכרתה קשת מלחמה ודבר שלום לגוים ומשלו מים עד ים ומנהר עד אפסי ארץ | 10 |
Efulayimu ndimuggyako amagaali, ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi, n’omutego gw’obusaale gulimenyebwa era alireeta emirembe mu mawanga, n’obufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero z’ensi.
גם את בדם בריתך שלחתי אסיריך מבור אין מים בו | 11 |
Naawe ggwe, olw’omusaayi gw’endagaano gye nakola naawe, ndisumulula abasibe bo okuva mu bunnya obutaliimu mazzi.
שובו לבצרון אסירי התקוה גם היום מגיד משנה אשיב לך | 12 |
Mudde mu nkambi yammwe mmwe abasibe abalina essuubi; nangirira leero nti ndibadizaawo emirundi ebiri.
כי דרכתי לי יהודה קשת מלאתי אפרים ועוררתי בניך ציון על בניך יון ושמתיך כחרב גבור | 13 |
Yuda ndigiweta ng’omutego ogw’obusaale ngujjuze Efulayimu. Ndiyimusa batabani ba Sayuuni, balwane n’abaana bo, ggwe Buyonaani, mbakozese ng’ekitala eky’omutabaazi.
ויהוה עליהם יראה ויצא כברק חצו ואדני יהוה בשופר יתקע והלך בסערות תימן | 14 |
Era Mukama alirabika ng’ali waggulu waabwe, akasaale ke kamyanse ng’okumyansa kw’eggulu. Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere, n’akumbira mu muyaga ogw’omu bukiikaddyo.
יהוה צבאות יגן עליהם ואכלו וכבשו אבני קלע ושתו המו כמו יין ומלאו כמזרק--כזויות מזבח | 15 |
Mukama ow’Eggye alibakuuma. Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo, balinywa ne baleekaana ng’abatamiivu. Balijjula ng’ekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda z’ekyoto.
והושיעם יהוה אלהיהם ביום ההוא--כצאן עמו כי אבני נזר מתנוססות על אדמתו | 16 |
Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be ng’omusumba bw’alokola ekisibo ky’endiga ze. Balitangalijja mu nsi ye, ng’amayinja ag’omuwendo bwe gatemagana mu ngule.
כי מה טובו ומה יפיו--דגן בחורים ותירוש ינובב בתלות | 17 |
Nga baliba balungi era abatuukirivu! Emmere ey’empeke erireetera abavubuka abalenzi obulamu obweyagaza, n’abawala nabo beeyagale olwa wayini omuggya.