< שיר השירים 1 >
Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna.
ישקני מנשיקות פיהו כי טובים דדיך מיין | 2 |
Leka annywegere n’emimwa gye kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo,
לריח שמניך טובים שמן תורק שמך על כן עלמות אהבוך | 3 |
n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi; erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa, era abawala kyebava bakwagala.
משכני אחריך נרוצה הביאני המלך חדריו נגילה ונשמחה בך--נזכירה דדיך מיין מישרים אהבוך | 4 |
Baako ne gy’ontwala, yanguwa! Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye. Abemikwano Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu; era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo. Omwagalwa Nga batuufu okukwegomba!
שחורה אני ונאוה בנות ירושלם כאהלי קדר כיריעות שלמה | 5 |
Ndi muddugavu, ndi mulungi, Mmwe abawala ba Yerusaalemi muli ng’eweema ez’e Kedali, era ng’entimbe za Sulemaani.
אל תראוני שאני שחרחרת ששזפתני השמש בני אמי נחרו בי שמני נטרה את הכרמים--כרמי שלי לא נטרתי | 6 |
Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu, olw’okuba omusana gunjokezza. Batabani ba mmange baansunguwalira; ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu. Ennimiro yange ngigayaaliridde.
הגידה לי שאהבה נפשי איכה תרעה איכה תרביץ בצהרים שלמה אהיה כעטיה על עדרי חבריך | 7 |
Ntegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo, ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu. Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo?
אם לא תדעי לך היפה בנשים צאי לך בעקבי הצאן ורעי את גדיתיך על משכנות הרעים | 8 |
Bw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi, goberera ekkubo endiga lye zikutte, ogende oliisize embuzi zo ento, okumpi n’eweema z’abasumba.
לססתי ברכבי פרעה דמיתיך רעיתי | 9 |
Omwagalwa wange, nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo.
נאוו לחייך בתרים צוארך בחרוזים | 10 |
Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu, n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo.
תורי זהב נעשה לך עם נקדות הכסף | 11 |
Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu, nga birina amapeesa aga ffeeza.
עד שהמלך במסבו נרדי נתן ריחו | 12 |
Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye, akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi.
צרור המר דודי לי בין שדי ילין | 13 |
Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli gye ndi, ng’awummulidde mu kifuba kyange.
אשכל הכפר דודי לי בכרמי עין גדי | 14 |
Muganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi.
הנך יפה רעיתי הנך יפה עיניך יונים | 15 |
Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange oli mubalagavu olabika bulungi. Amaaso go mayiba.
הנך יפה דודי אף נעים אף ערשנו רעננה | 16 |
Olabika bulungi muganzi wange, era onsanyusa. Ekitanda kyaffe kya muddo muto.
קרות בתינו ארזים רחיטנו (רהיטנו) ברותים | 17 |
Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule, n’enzooba zaffe nkanaga.