< תהילים 96 >

שירו ליהוה שיר חדש שירו ליהוה כל-הארץ 1
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya; muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
שירו ליהוה ברכו שמו בשרו מיום-ליום ישועתו 2
Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye, mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
ספרו בגוים כבודו בכל-העמים נפלאותיו 3
Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna, eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.
כי גדול יהוה ומהלל מאד נורא הוא על-כל-אלהים 4
Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa; asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
כי כל-אלהי העמים אלילים ויהוה שמים עשה 5
Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi; naye Mukama ye yakola eggulu.
הוד-והדר לפניו עז ותפארת במקדשו 6
Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola; amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
הבו ליהוה משפחות עמים הבו ליהוה כבוד ועז 7
Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna; mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
הבו ליהוה כבוד שמו שאו-מנחה ובאו לחצרותיו 8
Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
השתחוו ליהוה בהדרת-קדש חילו מפניו כל-הארץ 9
Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe. Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
אמרו בגוים יהוה מלך-- אף-תכון תבל בל-תמוט ידין עמים במישרים 10
Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga. Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako; Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
ישמחו השמים ותגל הארץ ירעם הים ומלאו 11
Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze; ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
יעלז שדי וכל-אשר-בו אז ירננו כל-עצי-יער 12
Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze; n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
לפני יהוה כי בא-- כי בא לשפט הארץ ישפט-תבל בצדק ועמים באמונתו 13
Kubanga Mukama ajja; ajja okusalira ensi omusango. Mukama aliramula ensi mu butuukirivu, n’abantu bonna abalamule mu mazima.

< תהילים 96 >