< תהילים 86 >
תפלה לדוד הטה-יהוה אזנך ענני-- כי-עני ואביון אני | 1 |
Okusaba kwa Dawudi. Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule, kubanga ndi mwavu atalina kintu.
שמרה נפשי כי-חסיד אני הושע עבדך אתה אלהי-- הבוטח אליך | 2 |
Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa. Katonda wange, ondokole nze omuddu wo akwesiga.
חנני אדני כי אליך אקרא כל-היום | 3 |
Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
שמח נפש עבדך כי אליך אדני נפשי אשא | 4 |
Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama; kubanga omwoyo gwange nguyimusa eyo gy’oli.
כי-אתה אדני טוב וסלח ורב-חסד לכל-קראיך | 5 |
Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama; n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
האזינה יהוה תפלתי והקשיבה בקול תחנונותי | 6 |
Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama; owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.
ביום צרתי אקראך כי תענני | 7 |
Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga; kubanga ononnyanukulanga.
אין-כמוך באלהים אדני ואין כמעשיך | 8 |
Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama; era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
כל-גוים אשר עשית--יבואו וישתחוו לפניך אדני ויכבדו לשמך | 9 |
Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda ganajjanga mu maaso go ne gakusinza; era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
כי-גדול אתה ועשה נפלאות אתה אלהים לבדך | 10 |
Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa; ggwe wekka ggwe Katonda.
הורני יהוה דרכך-- אהלך באמתך יחד לבבי ליראה שמך | 11 |
Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama, ntambulirenga mu mazima go; ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana, ntyenga erinnya lyo.
אודך אדני אלהי--בכל-לבבי ואכבדה שמך לעולם | 12 |
Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna; erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.
כי-חסדך גדול עלי והצלת נפשי משאול תחתיה (Sheol ) | 13 |
Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi; wawonya omwoyo gwange amagombe. (Sheol )
אלהים זדים קמו-עלי ועדת עריצים בקשו נפשי ולא שמוך לנגדם | 14 |
Ayi Katonda, ab’amalala bannumba, ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita, be bantu abatakufiirako ddala.
ואתה אדני אל-רחום וחנון ארך אפים ורב-חסד ואמת | 15 |
Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa, olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
פנה אלי וחנני תנה-עזך לעבדך והושיעה לבן-אמתך | 16 |
Onkyukire, onsaasire, ompe amaanyi go nze omuweereza wo; nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
עשה-עמי אות לטובה ויראו שנאי ויבשו-- כי-אתה יהוה עזרתני ונחמתני | 17 |
Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo, abalabe bange bakalabe baswale; kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.