< תהילים 84 >
למנצח על-הגתית לבני-קרח מזמור ב מה-ידידות משכנותיך-- יהוה צבאות | 1 |
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Eweema zo nga nnungi, Ayi Mukama ow’Eggye!
נכספה וגם-כלתה נפשי-- לחצרות יהוה לבי ובשרי-- ירננו אל אל-חי | 2 |
Omwoyo gwange guyaayaana, gwagala na kuzirika, olw’empya za Mukama, omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
גם-צפור מצאה בית ודרור קן לה-- אשר-שתה אפרחיה את-מזבחותיך יהוה צבאות-- מלכי ואלהי | 3 |
Weewaawo, ne nkazaluggya yeekoledde ekisu, n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo awo okumpi n’Ebyoto byo, Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
אשרי יושבי ביתך-- עוד יהללוך סלה | 4 |
Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo, banaakutenderezanga.
אשרי אדם עוז-לו בך מסלות בלבבם | 5 |
Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go, era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
עברי בעמק הבכא-- מעין ישיתוהו גם-ברכות יעטה מורה | 6 |
Bayita mu kiwonvu Baka, ne bakifuula ekifo ky’ensulo; n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
ילכו מחיל אל-חיל יראה אל-אלהים בציון | 7 |
Bagenda beeyongera amaanyi, okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
יהוה אלהים צבאות שמעה תפלתי האזינה אלהי יעקב סלה | 8 |
Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye; mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
מגננו ראה אלהים והבט פני משיחך | 9 |
Ayi Katonda, Engabo yaffe, tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
כי טוב-יום בחצריך מאלף בחרתי--הסתופף בבית אלהי מדור באהלי-רשע | 10 |
Okumala olunaku olumu mu mpya zo, kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange, okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
כי שמש ומגן-- יהוה אלהים חן וכבוד יתן יהוה לא ימנע-טוב להלכים בתמים | 11 |
Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa; tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
יהוה צבאות-- אשרי אדם בטח בך | 12 |
Ayi Mukama ow’Eggye alina omukisa omuntu akwesiga.