< תהילים 83 >
שיר מזמור לאסף ב אלהים אל-דמי-לך אל-תחרש ואל-תשקט אל | 1 |
Oluyimba. Zabbuli ya Asafu. Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego. Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
כי-הנה אויביך יהמיון ומשנאיך נשאו ראש | 2 |
Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo; abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
על-עמך יערימו סוד ויתיעצו על-צפוניך | 3 |
Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo; basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
אמרו--לכו ונכחידם מגוי ולא-יזכר שם-ישראל עוד | 4 |
Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize, n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”
כי נועצו לב יחדו עליך ברית יכרתו | 5 |
Basala olukwe n’omwoyo gumu; beegasse wamu bakulwanyise.
אהלי אדום וישמעאלים מואב והגרים | 6 |
Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri, n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
גבל ועמון ועמלק פלשת עם-ישבי צור | 7 |
Gebali ne Amoni, ne Amaleki, n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
גם-אשור נלוה עמם היו זרוע לבני-לוט סלה | 8 |
Era ne Asiriya yeegasse nabo, okuyamba bazzukulu ba Lutti.
עשה-להם כמדין כסיסרא כיבין בנחל קישון | 9 |
Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani, era nga bwe wakola Sisera ne Yabini ku mugga Kisoni,
נשמדו בעין-דאר היו דמן לאדמה | 10 |
abaazikiririra mu Endoli ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
שיתמו נדיבימו כערב וכזאב וכזבח וכצלמנע כל-נסיכימו | 11 |
Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu, n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
אשר אמרו נירשה לנו-- את נאות אלהים | 12 |
abaagamba nti, “Ka tutwale amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”
אלהי שיתמו כגלגל כקש לפני-רוח | 13 |
Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu, obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
כאש תבער-יער וכלהבה תלהט הרים | 14 |
Ng’omuliro bwe gwokya ekibira; n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
כן תרדפם בסערך ובסופתך תבהלם | 15 |
naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo, obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
מלא פניהם קלון ויבקשו שמך יהוה | 16 |
Baswaze nnyo, balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.
יבשו ויבהלו עדי-עד ויחפרו ויאבדו | 17 |
Bajjule ensonyi n’okutya, bazikirire nga baswadde nnyo.
וידעו-- כי-אתה שמך יהוה לבדך עליון על-כל-הארץ | 18 |
Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa Yakuwa, gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.