< תהילים 79 >
מזמור לאסף אלהים באו גוים בנחלתך-- טמאו את היכל קדשך שמו את-ירושלם לעיים | 1 |
Zabbuli ya Asafu. Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga; boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa, ne kifuuka entuumo.
נתנו את-נבלת עבדיך-- מאכל לעוף השמים בשר חסידיך לחיתו-ארץ | 2 |
Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga, n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
שפכו דמם כמים--סביבות ירושלם ואין קובר | 3 |
Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi okwetooloola Yerusaalemi, so nga abafudde tewali muntu abaziika.
היינו חרפה לשכנינו לעג וקלס לסביבותינו | 4 |
Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso, era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
עד-מה יהוה תאנף לנצח תבער כמו-אש קנאתך | 5 |
Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
שפך חמתך-- אל הגוים אשר לא-ידעוך ועל ממלכות-- אשר בשמך לא קראו | 6 |
Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga agatakumanyi, ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.
כי אכל את-יעקב ואת-נוהו השמו | 7 |
Kubanga bazikirizza Yakobo, ne basaanyaawo ensi ye.
אל-תזכר-לנו עונת ראשנים מהר יקדמונו רחמיך-- כי דלונו מאד | 8 |
Totubalira kibi kya bajjajjaffe; tukusaba oyanguwe okutusaasira kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
עזרנו אלהי ישענו-- על-דבר כבוד-שמך והצילנו וכפר על-חטאתינו למען שמך | 9 |
Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe olw’erinnya lyo.
למה יאמרו הגוים-- איה אלהיהם יודע בגיים (בגוים) לעינינו נקמת דם-עבדיך השפוך | 10 |
Lwaki abamawanga babuuza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?” Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa, kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
תבוא לפניך אנקת אסיר כגדל זרועך--הותר בני תמותה | 11 |
Wuliriza okusinda kw’omusibe; okozese omukono gwo ogw’amaanyi owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
והשב לשכנינו שבעתים אל-חיקם חרפתם אשר חרפוך אדני | 12 |
Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira, bawalane emirundi musanvu.
ואנחנו עמך וצאן מרעיתך-- נודה לך לעולם לדר ודר-- נספר תהלתך | 13 |
Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo, tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna; buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.