< תהילים 75 >
למנצח אל-תשחת מזמור לאסף שיר ב הודינו לך אלהים--הודינו וקרוב שמך ספרו נפלאותיך | 1 |
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba. Tukwebaza, Ayi Katonda. Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi. Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.
כי אקח מועד אני מישרים אשפט | 2 |
Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera era nsala omusango gwa bwenkanya.
נמגים ארץ וכל-ישביה אנכי תכנתי עמודיה סלה | 3 |
Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira, naye nze nywezezza empagi zaayo.”
אמרתי להוללים אל-תהלו ולרשעים אל-תרימו קרן | 4 |
Nalabula ab’amalala bagaleke, n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
אל-תרימו למרום קרנכם תדברו בצואר עתק | 5 |
Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu n’okwogera nga muduula.
כי לא ממוצא וממערב ולא ממדבר הרים | 6 |
Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
כי-אלהים שפט זה ישפיל וזה ירים | 7 |
wabula biva eri Katonda; era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
כי כוס ביד-יהוה ויין חמר מלא מסך-- ויגר מזה אך-שמריה ימצו ישתו כל רשעי-ארץ | 8 |
Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu; akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.
ואני אגיד לעלם אזמרה לאלהי יעקב | 9 |
Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama; nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
וכל-קרני רשעים אגדע תרוממנה קרנות צדיק | 10 |
Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi, naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.