< תהילים 73 >

מזמור לאסף אך טוב לישראל אלהים-- לברי לבב 1
Zabbuli ya Asafu. Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri n’eri abo abalina omutima omulongoofu.
ואני--כמעט נטוי (נטיו) רגלי כאין שפכה (שפכו) אשרי 2
Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala era n’ebigere byange okuseerera.
כי-קנאתי בהוללים שלום רשעים אראה 3
Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya; bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.
כי אין חרצבות למותם ובריא אולם 4
Kubanga tebalina kibaluma; emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
בעמל אנוש אינמו ועם-אדם לא ינגעו 5
Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala. So tebalina kibabonyaabonya.
לכן ענקתמו גאוה יעטף-שית חמס למו 6
Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago, n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
יצא מחלב עינמו עברו משכיות לבב 7
Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana; balina bingi okusinga bye beetaaga.
ימיקו וידברו ברע עשק ממרום ידברו 8
Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga. Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
שתו בשמים פיהם ולשונם תהלך בארץ 9
Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu; n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
לכן ישיב (ישוב) עמו הלם ומי מלא ימצו למו 10
Abantu ba Katonda kyebava babakyukira ne banywa amazzi mangi.
ואמרו איכה ידע-אל ויש דעה בעליון 11
Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya? Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”
הנה-אלה רשעים ושלוי עולם השגו-חיל 12
Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo; bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.
אך-ריק זכיתי לבבי וארחץ בנקיון כפי 13
Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona, n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
ואהי נגוע כל-היום ותוכחתי לבקרים 14
Naye mbonaabona obudde okuziba, era buli nkya mbonerezebwa.
אם-אמרתי אספרה כמו הנה דור בניך בגדתי 15
Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti, nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
ואחשבה לדעת זאת עמל היא (הוא) בעיני 16
Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo; nakisanga nga kizibu nnyo,
עד-אבוא אל-מקדשי-אל אבינה לאחריתם 17
okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda, ne ntegeera enkomerero y’ababi.
אך בחלקות תשית למו הפלתם למשואות 18
Ddala obatadde mu bifo ebiseerera; obasudde n’obafaafaaganya.
איך היו לשמה כרגע ספו תמו מן-בלהות 19
Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe! Entiisa n’ebamalirawo ddala!
כחלום מהקיץ-- אדני בעיר צלמם תבזה 20
Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi; era naawe bw’otyo, Ayi Mukama, bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.
כי יתחמץ לבבי וכליותי אשתונן 21
Omutima gwange bwe gwanyiikaala, n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
ואני-בער ולא אדע בהמות הייתי עמך 22
n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi, ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.
ואני תמיד עמך אחזת ביד-ימיני 23
Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo; gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
בעצתך תנחני ואחר כבוד תקחני 24
Mu kuteesa kwo onkulembera, era olintuusa mu kitiibwa.
מי-לי בשמים ועמך לא-חפצתי בארץ 25
Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe? Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
כלה שארי ולבבי צור-לבבי וחלקי--אלהים לעולם 26
Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa; naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange, era ye wange ennaku zonna.
כי-הנה רחקיך יאבדו הצמתה כל-זונה ממך 27
Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira; kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala.
ואני קרבת אלהים-- לי-טוב שתי באדני יהוה מחסי לספר כל-מלאכותיך 28
Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange. Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange; ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo.

< תהילים 73 >