< תהילים 71 >

בך-יהוה חסיתי אל-אבושה לעולם 1
Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka, tondeka kuswazibwa.
בצדקתך תצילני ותפלטני הטה-אלי אזנך והושיעני 2
Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye; ontegere okutu ondokole.
היה לי לצור מעון לבוא-- תמיד צוית להושיעני כי-סלעי ומצודתי אתה 3
Onfuukire olwazi obuddukiro bwange, ekifo eky’amaanyi; ondokole kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
אלהי--פלטני מיד רשע מכף מעול וחומץ 4
Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi, omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.
כי-אתה תקותי אדני יהוה מבטחי מנעורי 5
Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange; ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
עליך נסמכתי מבטן--ממעי אמי אתה גוזי בך תהלתי תמיד 6
Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa; ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange. Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
כמופת הייתי לרבים ואתה מחסי-עז 7
Eri abangi nafuuka; naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
ימלא פי תהלתך כל-היום תפארתך 8
Akamwa kange kajjudde ettendo lyo, nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.
אל-תשליכני לעת זקנה ככלות כחי אל-תעזבני 9
Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde. Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
כי-אמרו אויבי לי ושמרי נפשי נועצו יחדו 10
Kubanga abalabe bange banjogerako; abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
לאמר אלהים עזבו רדפו ותפשוהו כי-אין מציל 11
Bagamba nti, “Katonda amulese, ka tumugobe tumukwate, kubanga taliiko anaamuwonya.”
אלהים אל-תרחק ממני אלהי לעזרתי חישה (חושה) 12
Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange, yanguwa ojje ombeere.
יבשו יכלו שטני נפשי יעטו חרפה וכלמה--מבקשי רעתי 13
Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi, abanoonya okunnumya baswale era banyoomebwe.
ואני תמיד איחל והוספתי על-כל-תהלתך 14
Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna. Era nneeyongeranga okukutenderezanga.
פי יספר צדקתך--כל-היום תשועתך כי לא ידעתי ספרות 15
Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba; nnaayogeranga ku bulokozi bwo, wadde siyinza kubupima.
אבוא--בגברות אדני יהוה אזכיר צדקתך לבדך 16
Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda, era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
אלהים למדתני מנעורי ועד-הנה אגיד נפלאותיך 17
Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange; n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
וגם עד-זקנה ושיבה-- אלהים אל-תעזבני עד-אגיד זרועך לדור לכל-יבוא גבורתך 18
Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi, tonjabuliranga, Ayi Katonda, okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi, n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.
וצדקתך אלהים עד-מרום אשר-עשית גדלות אלהים מי כמוך 19
N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu. Ggw’okoze ebikulu, Ayi Katonda, ani akwenkana?
אשר הראיתנו (הראיתני) צרות רבות-- ורעות תשוב תחינו (תחיני) ומתהמות הארץ תשוב תעלני 20
Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo, ggw’olinzizaamu obulamu, n’ompa amaanyi amaggya, n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
תרב גדלתי ותסב תנחמני 21
Olinnyongerako ekitiibwa n’oddamu okunsanyusa.
גם-אני אודך בכלי-נבל-- אמתך אלהי אזמרה לך בכנור-- קדוש ישראל 22
Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange; nnaakutenderezanga n’entongooli, Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
תרננה שפתי כי אזמרה-לך ונפשי אשר פדית 23
Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu nga nkutendereza, nze gw’onunudde!
גם-לשוני-- כל-היום תהגה צדקתך כי-בשו כי-חפרו מבקשי רעתי 24
Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba, kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.

< תהילים 71 >