< תהילים 70 >

למנצח לדוד להזכיר אלהים להצילני יהוה לעזרתי חושה 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza. Ayi Katonda oyanguwa okundokole. Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.
יבשו ויחפרו מבקשי נפשי יסגו אחור ויכלמו חפצי רעתי 2
Abo abannoonya okunzita batabulwetabulwe; abo abannoonya okunzikiriza, bagobebwe nga baswadde.
ישובו על-עקב בשתם-- האמרים האח האח 3
Abagamba nti, “Kasonso,” badduke nga bajjudde ensonyi.
ישישו וישמחו בך-- כל-מבקשיך ויאמרו תמיד יגדל אלהים-- אהבי ישועתך 4
Naye bonna abakunoonya basanyukenga bajagulizenga mu ggwe. Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Katonda agulumizibwenga!”
ואני עני ואביון-- אלהים חושה-לי עזרי ומפלטי אתה יהוה אל-תאחר 5
Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga; oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda. Ggwe onnyamba era ggwe ondokola, Ayi Mukama, tolwa!

< תהילים 70 >