< תהילים 69 >

למנצח על-שושנים לדוד ב הושיעני אלהים-- כי באו מים עד-נפש 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi. Ondokole, Ayi Katonda, kubanga amazzi gandi mu bulago.
טבעתי ביון מצולה-- ואין מעמד באתי במעמקי-מים ושבלת שטפתני 2
Ntubira mu bitosi nga sirina we nnywereza kigere. Ntuuse ebuziba n’amataba gansaanikira.
יגעתי בקראי נחר גרוני כלו עיני--מיחל לאלהי 3
Ndajanye ne nkoowa, n’emimiro ginkaze. Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
רבו משערות ראשי-- שנאי חנם עצמו מצמיתי איבי שקר-- אשר לא-גזלתי אז אשיב 4
Abo abankyayira obwereere bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange; abalabe bange bangi abannoonya okunzita awatali nsonga; ne mpalirizibwa mbaddizeewo ekyo kye sibbanga.
אלהים--אתה ידעת לאולתי ואשמותי ממך לא-נכחדו 5
Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange, n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.
אל-יבשו בי קויך-- אדני יהוה צבאות אל-יכלמו בי מבקשיך-- אלהי ישראל 6
Sisaana kuswaza abo abakwesiga, Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye. Abo abakunoonya baleme kuswazibwa ku lwange, Ayi Katonda wa Isirayiri.
כי-עליך נשאתי חרפה כסתה כלמה פני 7
Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo, n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
מוזר הייתי לאחי ונכרי לבני אמי 8
Nfuuse nga omugwira eri baganda bange, munnaggwanga eri abaana ba mmange.
כי-קנאת ביתך אכלתני וחרפות חורפיך נפלו עלי 9
Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo, n’abo abakuvuma bavuma nze.
ואבכה בצום נפשי ותהי לחרפות לי 10
Bwe nkaaba ne nsiiba, ekyo nakyo ne kinvumisa.
ואתנה לבושי שק ואהי להם למשל 11
Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
ישיחו בי ישבי שער ונגינות שותי שכר 12
Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira, era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.
ואני תפלתי-לך יהוה עת רצון-- אלהים ברב-חסדך ענני באמת ישעך 13
Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe, mu kiseera eky’ekisa kyo. Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda, ondokole nga bwe wasuubiza.
הצילני מטיט ואל-אטבעה אנצלה משנאי וממעמקי מים 14
Onnyinyulule mu ttosi nneme okutubira; omponye abankyawa, onzigye mu mazzi amangi;
אל-תשטפני שבלת מים-- ואל-תבלעני מצולה ואל-תאטר-עלי באר פיה 15
amataba galeme okumbuutikira n’obuziba okunsanyaawo, n’ennyanja ereme okummira.
ענני יהוה כי-טוב חסדך כרב רחמיך פנה אלי 16
Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo; onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
ואל-תסתר פניך מעבדך כי-צר-לי מהר ענני 17
Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu, kubanga ndi mu kabi.
קרבה אל-נפשי גאלה למען איבי פדני 18
Onsemberere onziruukirire, onnunule mu balabe bange.
אתה ידעת--חרפתי ובשתי וכלמתי נגדך כל-צוררי 19
Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa, era n’abalabe bange bonna obamanyi.
חרפה שברה לבי-- ואנושה ואקוה לנוד ואין ולמנחמים ולא מצאתי 20
Okusekererwa kunkutudde omutima era kummazeemu amaanyi. Nanoonya okusaasirwa ne kumbula, n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
ויתנו בברותי ראש ולצמאי ישקוני חמץ 21
Mu kifo ky’emmere bampa mususa, era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.
יהי-שלחנם לפניהם לפח ולשלומים למוקש 22
Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika, n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
תחשכנה עיניהם מראות ומתניהם תמיד המעד 23
Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba, n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
שפך-עליהם זעמך וחרון אפך ישיגם 24
Bayiweeko ekiruyi kyo, obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.
תהי-טירתם נשמה באהליהם אל-יהי ישב 25
Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa, waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.
כי-אתה אשר-הכית רדפו ואל-מכאוב חלליך יספרו 26
Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise, ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
תנה-עון על-עונם ואל-יבאו בצדקתך 27
Bavunaane omusango kina gumu, era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
ימחו מספר חיים ועם צדיקים אל-יכתבו 28
Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu; baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.
ואני עני וכואב ישועתך אלהים תשגבני 29
Ndi mu bulumi era mu nnaku; obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.
אהללה שם-אלהים בשיר ואגדלנו בתודה 30
Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba; nnaamugulumizanga n’okwebaza.
ותיטב ליהוה משור פר מקרן מפריס 31
Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume, oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.
ראו ענוים ישמחו דרשי אלהים ויחי לבבכם 32
Abaavu banaakirabanga ne basanyuka; mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
כי-שמע אל-אביונים יהוה ואת-אסיריו לא בזה 33
Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga, era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.
יהללוהו שמים וארץ ימים וכל-רמש בם 34
Kale eggulu n’ensi bimutenderezenga awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.
כי אלהים יושיע ציון ויבנה ערי יהודה וישבו שם וירשוה 35
Kubanga Katonda alirokola Sayuuni, n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya, abantu ne babibeerangamu nga byabwe.
וזרע עבדיו ינחלוה ואהבי שמו ישכנו-בה 36
Abaana b’abaweereza be balikisikira; n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.

< תהילים 69 >