< תהילים 63 >

מזמור לדוד בהיותו במדבר יהודה ב אלהים אלי אתה-- אשחרך צמאה לך נפשי-- כמה לך בשרי בארץ-ציה ועיף בלי-מים 1
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda. Ayi Katonda, oli Katonda wange, nkunoonya n’omutima gwange gwonna; emmeeme yange ekwetaaga, omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira, nga nnina ennyonta ng’ali mu nsi enkalu omutali mazzi.
כן בקדש חזיתך-- לראות עזך וכבודך 2
Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu, ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
כי-טוב חסדך מחיים שפתי ישבחונך 3
Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu; akamwa kange kanaakutenderezanga.
כן אברכך בחיי בשמך אשא כפי 4
Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna; nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
כמו חלב ודשן תשבע נפשי ושפתי רננות יהלל-פי 5
Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga; nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
אם-זכרתיך על-יצועי-- באשמרות אהגה-בך 6
Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange, era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
כי-היית עזרתה לי ובצל כנפיך ארנן 7
Olw’okuba ng’oli mubeezi wange, nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
דבקה נפשי אחריך בי תמכה ימינך 8
Emmeeme yange yeekwata ku ggwe; omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
והמה--לשואה יבקשו נפשי יבאו בתחתיות הארץ 9
Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa, baliserengeta emagombe.
יגירהו על-ידי-חרב מנת שעלים יהיו 10
Balisaanawo n’ekitala; ne bafuuka emmere y’ebibe.
והמלך ישמח באלהים יתהלל כל-הנשבע בו כי יסכר פי דוברי-שקר 11
Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda; bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda, naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.

< תהילים 63 >