< תהילים 6 >

למנצח בנגינות על-השמינית מזמור לדוד ב יהוה אל-באפך תוכיחני ואל-בחמתך תיסרני 1
Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu; so tombonereza mu kiruyi kyo.
חנני יהוה כי אמלל-אני רפאני יהוה--כי נבהלו עצמי 2
Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu. Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
ונפשי נבהלה מאד ואת (ואתה) יהוה עד-מתי 3
Emmeeme yange ejjudde ennaku. Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?
שובה יהוה חלצה נפשי הושיעני למען חסדך 4
Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange; omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
כי אין במות זכרך בשאול מי יודה-לך (Sheol h7585) 5
Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa. Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe? (Sheol h7585)
יגעתי באנחתי--אשחה בכל-לילה מטתי בדמעתי ערשי אמסה 6
Mpweddemu amaanyi olw’okusinda. Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange n’omutto ne gutoba.
עששה מכעס עיני עתקה בכל-צוררי 7
Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa, tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.
סורו ממני כל-פעלי און כי-שמע יהוה קול בכיי 8
Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi; kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.
שמע יהוה תחנתי יהוה תפלתי יקח 9
Mukama awulidde okwegayirira kwange, n’okusaba kwange akukkirizza.
יבשו ויבהלו מאד--כל-איבי ישבו יבשו רגע 10
Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo; bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

< תהילים 6 >