< תהילים 57 >

למנצח אל-תשחת לדוד מכתם-- בברחו מפני-שאול במערה ב חנני אלהים חנני-- כי בך חסיה נפשי ובצל-כנפיך אחסה-- עד יעבר הוות 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku. Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire, kubanga neesiga ggwe. Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.
אקרא לאלהים עליון לאל גמר עלי 2
Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo, Katonda atuukiriza bye yantegekera.
ישלח משמים ויושיעני-- חרף שאפי סלה ישלח אלהים חסדו ואמתו 3
Alisinzira mu ggulu n’andokola, n’amponya abo abampalana. Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.
נפשי בתוך לבאם-- אשכבה להטים בני-אדם--שניהם חנית וחצים ולשונם חרב חדה 4
Mbeera wakati mu mpologoma, nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu. Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale. Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.
רומה על-השמים אלהים על כל-הארץ כבודך 5
Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
רשת הכינו לפעמי-- כפף נפשי כרו לפני שיחה נפלו בתוכה סלה 6
Baatega ekitimba mu kkubo lyange, ne ntya nnyo; ne basimamu obunnya, ate bo bennyini ne babugwamu.
נכון לבי אלהים נכון לבי אשירה ואזמרה 7
Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda, omutima gwange munywevu. Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
עורה כבודי--עורה הנבל וכנור אעירה שחר 8
Zuukuka, ggwe omwoyo gwange! Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli, ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.
אודך בעמים אדני אזמרך בלאמים 9
Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga; ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
כי-גדל עד-שמים חסדך ועד-שחקים אמתך 10
Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu; n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
רומה על-שמים אלהים על כל-הארץ כבודך 11
Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

< תהילים 57 >