< תהילים 55 >
למנצח בנגינת משכיל לדוד ב האזינה אלהים תפלתי ואל-תתעלם מתחנתי | 1 |
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda, togaya kwegayirira kwange.
הקשיבה לי וענני אריד בשיחי ואהימה | 2 |
Ompulire era onziremu, kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
מקול אויב--מפני עקת רשע כי-ימיטו עלי און ובאף ישטמוני | 3 |
Mpulira amaloboozi g’abalabe bange; ababi bankanulidde amaaso ne banvuma nga bajjudde obusungu.
לבי יחיל בקרבי ואימות מות נפלו עלי | 4 |
Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange; entiisa y’okufa entuukiridde.
יראה ורעד יבא בי ותכסני פלצות | 5 |
Okutya n’okukankana binnumbye; entiisa empitiridde.
ואמר--מי-יתן-לי אבר כיונה אעופה ואשכנה | 6 |
Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba, nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
הנה ארחיק נדד אלין במדבר סלה | 7 |
“Nandiraze wala nnyo, ne mbeera eyo mu ddungu;
אחישה מפלט לי-- מרוח סעה מסער | 8 |
nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu, eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”
בלע אדני פלג לשונם כי-ראיתי חמס וריב בעיר | 9 |
Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe; kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
יומם ולילה--יסובבה על-חומתיה ואון ועמל בקרבה | 10 |
Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro, ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
הוות בקרבה ולא-ימיש מרחבה תך ומרמה | 11 |
Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo. Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.
כי לא-אויב יחרפני ואשא לא-משנאי עלי הגדיל ואסתר ממנו | 12 |
Singa omulabe wange y’abadde anvuma, nandikigumiikirizza; singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira, nandimwekwese.
ואתה אנוש כערכי אלופי ומידעי | 13 |
Naye ggwe munnange, bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
אשר יחדו נמתיק סוד בבית אלהים נהלך ברגש | 14 |
Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda, nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.
ישימות (ישי מות) עלימו--ירדו שאול חיים כי-רעות במגורם בקרבם (Sheol ) | 15 |
Okufa kubatuukirire, bakke emagombe nga bakyali balamu; kubanga bajjudde okukola ebibi. (Sheol )
אני אל-אלהים אקרא ויהוה יושיעני | 16 |
Naye nze nkoowoola Mukama Katonda, n’andokola.
ערב ובקר וצהרים אשיחה ואהמה וישמע קולי | 17 |
Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu, ndaajana nga bwe nsinda; n’awulira eddoboozi lyange.
פדה בשלום נפשי מקרב-לי כי-ברבים היו עמדי | 18 |
Amponyezza mu lutalo nga siriiko kintuseeko newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
ישמע אל ויענם-- וישב קדם סלה אשר אין חליפות למו ולא יראו אלהים | 19 |
Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna, aliwulira n’ababonereza abo abatakyusa makubo gaabwe era abatatya Katonda.
שלח ידיו בשלמיו חלל בריתו | 20 |
Agololera emikono gye ku mikwano gye; n’amenya endagaano ye.
חלקו מחמאת פיו-- וקרב-לבו רכו דבריו משמן והמה פתחות | 21 |
By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo, so nga mu mutima gwe alowooza lutalo; ebigambo bye biweweera okusinga amafuta, so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.
השלך על-יהוה יהבך-- והוא יכלכלך לא-יתן לעולם מוט-- לצדיק | 22 |
Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama, ajja kukuwanirira; kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
ואתה אלהים תורדם לבאר שחת-- אנשי דמים ומרמה לא-יחצו ימיהם ואני אבטח-בך | 23 |
Naye ggwe, Ayi Katonda, olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira; era abatemu n’abalimba bonna tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe. Naye nze, neesiga ggwe.