< תהילים 49 >
למנצח לבני-קרח מזמור ב שמעו-זאת כל-העמים האזינו כל-ישבי חלד | 1 |
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Muwulire mmwe amawanga gonna, mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
גם-בני אדם גם-בני-איש-- יחד עשיר ואביון | 2 |
Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna; muwulirize ebigambo byange.
פי ידבר חכמות והגות לבי תבונות | 3 |
Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi, ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
אטה למשל אזני אפתח בכנור חידתי | 4 |
Nnaakozesanga ebikwata ku ngero, nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.
למה אירא בימי רע-- עון עקבי יסובני | 5 |
Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu; newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
הבטחים על-חילם וברב עשרם יתהללו | 6 |
abantu abeesiga obugagga bwabwe beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
אח--לא פדה יפדה איש לא-יתן לאלהים כפרו | 7 |
Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne, wadde okwegula okuva eri Katonda.
ויקר פדיון נפשם וחדל לעולם | 8 |
Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo, tewali n’omu agusobola;
ויחי-עוד לנצח לא יראה השחת | 9 |
alyoke awangaale ennaku zonna nga tatuuse magombe.
כי יראה חכמים ימותו-- יחד כסיל ובער יאבדו ועזבו לאחרים חילם | 10 |
Kubanga n’abantu abagezi bafa; abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo, obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
קרבם בתימו לעולם-- משכנתם לדור ודר קראו בשמותם עלי אדמות | 11 |
Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna; nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo; baafuna ettaka mu mannya gaabwe.
ואדם ביקר בל-ילין נמשל כבהמות נדמו | 12 |
Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya, alifa ng’ensolo bwe zifa.
זה דרכם כסל למו ואחריהם בפיהם ירצו סלה | 13 |
Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu, era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
כצאן לשאול שתו-- מות ירעם וירדו בם ישרים לבקר--וצירם (וצורם) לבלות שאול מזבל לו (Sheol ) | 14 |
Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa; olumbe ne lubalya. Bakka butereevu emagombe, obulungi bwabwe ne bubula, amagombe ne gafuuka amaka gaabwe. (Sheol )
אך-אלהים--יפדה נפשי מיד-שאול כי יקחני סלה (Sheol ) | 15 |
Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe, ddala ddala alintwala gy’ali. (Sheol )
אל-תירא כי-יעשר איש כי-ירבה כבוד ביתו | 16 |
Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde, tomutyanga,
כי לא במותו יקח הכל לא-ירד אחריו כבודו | 17 |
kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
כי-נפשו בחייו יברך ויודך כי-תיטיב לך | 18 |
Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
תבוא עד-דור אבותיו עד-נצח לא יראו-אור | 19 |
kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe, n’ayingira mu kizikiza ekikutte.
אדם ביקר ולא יבין נמשל כבהמות נדמו | 20 |
Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna, alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.