< תהילים 48 >
שיר מזמור לבני-קרח ב גדול יהוה ומהלל מאד-- בעיר אלהינו הר-קדשו | 1 |
Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola. Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
יפה נוף משוש כל-הארץ הר-ציון ירכתי צפון קרית מלך רב | 2 |
Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu, olusanyusa ensi yonna. Ku ntikko Zafoni kwe kuli ekibuga kya Kabaka Omukulu;
אלהים בארמנותיה נודע למשגב | 3 |
Katonda mw’abeera; yeeraze okuba ekigo kye.
כי-הנה המלכים נועדו עברו יחדו | 4 |
Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana ne bakyolekera bakirumbe;
המה ראו כן תמהו נבהלו נחפזו | 5 |
bwe baakituukako ne bakyewuunya, ne batya nnyo ne badduka;
רעדה אחזתם שם חיל כיולדה | 6 |
nga bakankana, ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
ברוח קדים-- תשבר אניות תרשיש | 7 |
Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.
כאשר שמענו כן ראינו-- בעיר-יהוה צבאות בעיר אלהינו אלהים יכוננה עד-עולם סלה | 8 |
Ebyo bye twawuliranga obuwulizi, kaakano tubirabye mu kibuga kya Mukama ow’Eggye, mu kibuga kya Katonda waffe, kyalinywereza ddala emirembe gyonna.
דמינו אלהים חסדך-- בקרב היכלך | 9 |
Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo nga tuli mu Yeekaalu yo.
כשמך אלהים-- כן תהלתך על-קצוי-ארץ צדק מלאה ימינך | 10 |
Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda, bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna. Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
ישמח הר ציון--תגלנה בנות יהודה למען משפטיך | 11 |
Sanyuka gwe Sayuuni, musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda; kubanga Katonda alamula bya nsonga.
סבו ציון והקיפוה ספרו מגדליה | 12 |
Mutambule mu Sayuuni, mukibune; mubale n’ebigo byakyo.
שיתו לבכם לחילה--פסגו ארמנותיה למען תספרו לדור אחרון | 13 |
Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna; mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.
כי זה אלהים אלהינו--עולם ועד הוא ינהגנו על-מות | 14 |
Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna; y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.