< תהילים 45 >

למנצח על-ששנים לבני-קרח משכיל שיר ידידת ב רחש לבי דבר טוב-- אמר אני מעשי למלך לשוני עט סופר מהיר 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola. Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka. Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.
יפיפית מבני אדם-- הוצק חן בשפתותיך על-כן ברכך אלהים לעולם 2
Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi; n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa. Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.
חגור-חרבך על-ירך גבור-- הודך והדרך 3
Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi, yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
והדרך צלח רכב-- על-דבר-אמת וענוה-צדק ותורך נוראות ימינך 4
Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi, ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu. Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
חציך שנונים עמים תחתיך יפלו בלב אויבי המלך 5
Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka; afuge amawanga.
כסאך אלהים עולם ועד שבט מישר שבט מלכותך 6
Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera; n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
אהבת צדק ותשנא-רשע על-כן משחך אלהים אלהיך שמן ששון-- מחברך 7
Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi; noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
מר-ואהלות קציעות כל-בגדתיך מן-היכלי שן מני שמחוך 8
Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya. Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza mu mbiri zo ez’amasanga.
בנות מלכים ביקרותיך נצבה שגל לימינך בכתם אופיר 9
Mu bakyala bo mulimu abambejja; namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.
שמעי-בת וראי והטי אזנך ושכחי עמך ובית אביך 10
Muwala, wuliriza bye nkugamba: “Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
ויתאו המלך יפיך כי-הוא אדניך והשתחוי-לו 11
Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira; nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
ובת-צר במנחה פניך יחלו--עשירי עם 12
Muwala w’e Ttuulo alijja n’ekirabo, abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
כל-כבודה בת-מלך פנימה ממשבצות זהב לבושה 13
Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye, ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
לרקמות תובל למלך בתולות אחריה רעותיה--מובאות לך 14
Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi. Emperekeze ze zimuwerekerako; bonna ne bajja gy’oli.
תובלנה בשמחת וגיל תבאינה בהיכל מלך 15
Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala, ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.
תחת אבתיך יהיו בניך תשיתמו לשרים בכל-הארץ 16
Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe, olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
אזכירה שמך בכל-דר ודר על-כן עמים יהודוך לעלם ועד 17
Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna. Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.

< תהילים 45 >