< תהילים 40 >

למנצח לדוד מזמור ב קוה קויתי יהוה ויט אלי וישמע שועתי 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza, n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
ויעלני מבור שאון-- מטיט היון ויקם על-סלע רגלי כונן אשרי 2
n’anziggya mu kinnya eky’entiisa, n’annyinyulula mu bitosi, n’anteeka ku lwazi olugumu kwe nyimiridde.
ויתן בפי שיר חדש-- תהלה לאלהינו יראו רבים וייראו ויבטחו ביהוה 3
Anjigirizza oluyimba oluggya, oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe. Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama n’okumwesiganga.
אשרי הגבר-- אשר-שם יהוה מבטחו ולא-פנה אל-רהבים ושטי כזב 4
Balina omukisa abo abeesiga Mukama, abatagoberera ba malala abasinza bakatonda ab’obulimba.
רבות עשית אתה יהוה אלהי-- נפלאתיך ומחשבתיך אלינו אין ערך אליך--אגידה ואדברה עצמו מספר 5
Ayi Mukama Katonda wange, otukoledde eby’ewunyisa bingi. Ebintu by’otuteekeddeteekedde tewali ayinza kubikutegeeza. Singa ngezaako okubittottola, sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.
זבח ומנחה לא-חפצת-- אזנים כרית לי עולה וחטאה לא שאלת 6
Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala. Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi, tobyetaaga. Naye onzigudde amatu.
אז אמרתי הנה-באתי במגלת-ספר כתוב עלי 7
Kyenava njogera nti, “Nzuuno, nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
לעשות-רצונך אלהי חפצתי ותורתך בתוך מעי 8
Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange, kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.
בשרתי צדק בקהל רב-- הנה שפתי לא אכלא יהוה אתה ידעת 9
Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene. Sisirika busirisi, nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.
צדקתך לא-כסיתי בתוך לבי-- אמונתך ותשועתך אמרתי לא-כחדתי חסדך ואמתך לקהל רב 10
Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange, naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo. Abantu nga bakuŋŋaanye, sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.
אתה יהוה-- לא-תכלא רחמיך ממני חסדך ואמתך תמיד יצרוני 11
Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama, amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
כי אפפו-עלי רעות עד-אין מספר-- השיגוני עונתי ולא-יכלתי לראות עצמו משערות ראשי ולבי עזבני 12
Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde; ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba; bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi, mpweddemu amaanyi.
רצה יהוה להצילני יהוה לעזרתי חושה 13
Onsasire ayi Mukama ondokole; Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.
יבשו ויחפרו יחד-- מבקשי נפשי לספותה יסגו אחור ויכלמו-- חפצי רעתי 14
Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale; n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.
ישמו על-עקב בשתם-- האמרים לי האח האח 15
Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.
ישישו וישמחו בך-- כל-מבקשיך יאמרו תמיד יגדל יהוה-- אהבי תשועתך 16
Naye abo abakunoonya basanyuke era bajaguze; abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “Mukama agulumizibwenga.”
ואני עני ואביון-- אדני יחשב-לי עזרתי ומפלטי אתה אלהי אל-תאחר 17
Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo. Mukama ondowoozeeko. Tolwawo, Ayi Katonda wange. Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.

< תהילים 40 >