< תהילים 4 >
למנצח בנגינות מזמור לדוד ב בקראי ענני אלהי צדקי--בצר הרחבת לי חנני ושמע תפלתי | 1 |
Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi. Bwe nkukoowoola onnyanukule, Ayi Katonda wange omutuukirivu. Bwe mba mu nnaku, onnyambe. Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.
בני איש עד-מה כבודי לכלמה--תאהבון ריק תבקשו כזב סלה | 2 |
Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange? Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
ודעו--כי-הפלה יהוה חסיד לו יהוה ישמע בקראי אליו | 3 |
Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera. Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.
רגזו ואל-תחטאו אמרו בלבבכם על-משכבכם ודמו סלה | 4 |
Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire, mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.
זבחו זבחי-צדק ובטחו אל-יהוה | 5 |
Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde; era mwesigenga Mukama.
רבים אמרים מי-יראנו-טוב נסה עלינו אור פניך יהוה | 6 |
Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama, otumulisize omusana gw’amaaso go.”
נתתה שמחה בלבי מעת דגנם ותירושם רבו | 7 |
Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.
בשלום יחדו אשכבה ואישן כי-אתה יהוה לבדד לבטח תושיבני | 8 |
Nnaagalamira ne nneebaka mirembe; kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama, ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.