< תהילים 34 >

לדוד-- בשנותו את-טעמו לפני אבימלך ויגרשהו וילך ב אברכה את-יהוה בכל-עת תמיד תהלתו בפי 1
Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira. Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera, akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
ביהוה תתהלל נפשי ישמעו ענוים וישמחו 2
Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama; ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
גדלו ליהוה אתי ונרוממה שמו יחדו 3
Kale tutendereze Mukama, ffenna tugulumizenga erinnya lye.
דרשתי את-יהוה וענני ומכל-מגורותי הצילני 4
Nanoonya Mukama, n’annyanukula; n’ammalamu okutya kwonna.
הביטו אליו ונהרו ופניהם אל-יחפרו 5
Abamwesiga banajjulanga essanyu, era tebaaswalenga.
זה עני קרא ויהוה שמע ומכל-צרותיו הושיעו 6
Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula, n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
חנה מלאך-יהוה סביב ליראיו ויחלצם 7
Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama, n’abawonya.
טעמו וראו כי-טוב יהוה אשרי הגבר יחסה-בו 8
Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi! Balina omukisa abaddukira gy’ali.
יראו את-יהוה קדשיו כי-אין מחסור ליראיו 9
Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be, kubanga abamutya tebaajulenga.
כפירים רשו ורעבו ודרשי יהוה לא-יחסרו כל-טוב 10
Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi; naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
לכו-בנים שמעו-לי יראת יהוה אלמדכם 11
Mujje wano baana bange, mumpulirize; mbayigirize okutya Mukama.
מי-האיש החפץ חיים אהב ימים לראות טוב 12
Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi, okuba mu ssanyu emyaka emingi?
נצר לשונך מרע ושפתיך מדבר מרמה 13
Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana, n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
סור מרע ועשה-טוב בקש שלום ורדפהו 14
Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi; noonya emirembe era ogigobererenga.
עיני יהוה אל-צדיקים ואזניו אל-שועתם 15
Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
פני יהוה בעשי רע להכרית מארץ זכרם 16
Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi, okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.
צעקו ויהוה שמע ומכל-צרותם הצילם 17
Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
קרוב יהוה לנשברי-לב ואת-דכאי-רוח יושיע 18
Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
רבות רעות צדיק ומכלם יצילנו יהוה 19
Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi, naye byonna Mukama abimuyisaamu.
שמר כל-עצמותיו אחת מהנה לא נשברה 20
Amagumba ge gonna Mukama agakuuma, ne watabaawo na limu limenyeka.
תמותת רשע רעה ושנאי צדיק יאשמו 21
Ekibi kiritta abakola ebibi, n’abalabe b’abatuukirivu balibonerezebwa.
פדה יהוה נפש עבדיו ולא יאשמו כל-החסים בו 22
Mukama anunula abaweereza be; so tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibonerezebwa.

< תהילים 34 >