< תהילים 33 >

רננו צדיקים ביהוה לישרים נאוה תהלה 1
Zabbuli ya Dawudi. Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu; kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.
הודו ליהוה בכנור בנבל עשור זמרו-לו 2
Mutendereze Mukama n’ennanga, mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.
שירו-לו שיר חדש היטיבו נגן בתרועה 3
Mumuyimbire oluyimba oluggya; musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.
כי-ישר דבר-יהוה וכל-מעשהו באמונה 4
Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima; mwesigwa mu buli ky’akola.
אהב צדקה ומשפט חסד יהוה מלאה הארץ 5
Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya. Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
בדבר יהוה שמים נעשו וברוח פיו כל-צבאם 6
Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa; n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
כנס כנד מי הים נתן באוצרות תהומות 7
Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu, agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.
ייראו מיהוה כל-הארץ ממנו יגורו כל-ישבי תבל 8
Ensi yonna esaana etyenga Mukama, n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;
כי הוא אמר ויהי הוא-צוה ויעמד 9
kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa, n’alagira n’eyimirira nga nywevu.
יהוה הפיר עצת-גוים הניא מחשבות עמים 10
Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga; alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.
עצת יהוה לעולם תעמד מחשבות לבו לדר ודר 11
Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna; n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.
אשרי הגוי אשר-יהוה אלהיו העם בחר לנחלה לו 12
Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo, ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
משמים הביט יהוה ראה את-כל-בני האדם 13
Mukama asinziira mu ggulu n’alaba abaana b’abantu bonna;
ממכון-שבתו השגיח-- אל כל-ישבי הארץ 14
asinziira mu kifo kye mw’abeera n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
היצר יחד לבם המבין אל-כל-מעשיהם 15
Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna ne yeetegereza byonna bye bakola.
אין-המלך נושע ברב-חיל גבור לא-ינצל ברב-כח 16
Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye; era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
שקר הסוס לתשועה וברב חילו לא ימלט 17
Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere; newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
הנה עין יהוה אל-יראיו למיחלים לחסדו 18
Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya; abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
להציל ממות נפשם ולחיותם ברעב 19
abawonya okufa, era abawonya enjala.
נפשנו חכתה ליהוה עזרנו ומגננו הוא 20
Tulindirira Mukama nga tulina essuubi, kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.
כי-בו ישמח לבנו כי בשם קדשו בטחנו 21
Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza, kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.
יהי-חסדך יהוה עלינו כאשר יחלנו לך 22
Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe, Ayi Mukama, ng’essuubi lyaffe bwe liri mu ggwe.

< תהילים 33 >