< תהילים 3 >
מזמור לדוד בברחו מפני אבשלום בנו ב יהוה מה-רבו צרי רבים קמים עלי | 1 |
Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu. Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi! Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
רבים אמרים לנפשי אין ישועתה לו באלהים סלה | 2 |
Bangi abanjogerako nti, “Katonda tagenda kumununula.”
ואתה יהוה מגן בעדי כבודי ומרים ראשי | 3 |
Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma; ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
קולי אל-יהוה אקרא ויענני מהר קדשו סלה | 4 |
Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.
אני שכבתי ואישנה הקיצותי--כי יהוה יסמכני | 5 |
Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi, kubanga Mukama ye ampanirira.
לא-אירא מרבבות עם-- אשר סביב שתו עלי | 6 |
Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange abanneetoolodde, okunnumba.
קומה יהוה הושיעני אלהי-- כי-הכית את-כל-איבי לחי שני רשעים שברת | 7 |
Golokoka, Ayi Mukama, ondokole Ayi Katonda wange okube abalabe bange bonna omenye oluba lw’abakola ebibi.
ליהוה הישועה על-עמך ברכתך סלה | 8 |
Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama. Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.