< תהילים 27 >
לדוד יהוה אורי וישעי--ממי אירא יהוה מעוז-חיי ממי אפחד | 1 |
Zabbuli ya Dawudi. Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange; ani gwe nnaatyanga? Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange; ani asobola okuntiisa?
בקרב עלי מרעים-- לאכל את-בשרי צרי ואיבי לי המה כשלו ונפלו | 2 |
Abalabe bange n’abantu ababi bonna bwe banannumba nga baagala okunzita, baneesittala ne bagwa.
אם-תחנה עלי מחנה-- לא-יירא לבי אם-תקום עלי מלחמה-- בזאת אני בוטח | 3 |
Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula, omutima gwange teguutyenga; olutalo ne bwe lunansitukirangako, nnaabanga mugumu.
אחת שאלתי מאת-יהוה-- אותה אבקש שבתי בבית-יהוה כל-ימי חיי לחזות בנעם-יהוה ולבקר בהיכלו | 4 |
Ekintu kimu kye nsaba Mukama, era ekyo kye nnoonya: okubeeranga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange, ne ndabanga obulungi bwa Mukama, era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
כי יצפנני בסכה-- ביום רעה יסתרני בסתר אהלו בצור ירוממני | 5 |
Kubanga mu biseera eby’obuzibu anansuzanga mu nju ye; anankwekanga mu weema ye, n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.
ועתה ירום ראשי על איבי סביבותי ואזבחה באהלו זבחי תרועה אשירה ואזמרה ליהוה | 6 |
Olwo ononnyimusanga waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde. Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu; nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.
שמע-יהוה קולי אקרא וחנני וענני | 7 |
Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola; onkwatirwe ekisa onnyanukule!
לך אמר לבי--בקשו פני את-פניך יהוה אבקש | 8 |
Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.” Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
אל-תסתר פניך ממני-- אל תט-באף עבדך עזרתי היית אל-תטשני ואל-תעזבני אלהי ישעי | 9 |
Tonneekweka, so tonyiigira muweereza wo, kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo. Tonneggyaako, so tonsuula, Ayi Katonda, Omulokozi wange.
כי-אבי ואמי עזבוני ויהוה יאספני | 10 |
Kitange ne mmange bwe balindeka, Mukama anandabiriranga.
הורני יהוה דרכך ונחני בארח מישור--למען שוררי | 11 |
Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole, era onkulembere mu kkubo lyo, kubanga abalabe bange banneetoolodde.
אל-תתנני בנפש צרי כי קמו-בי עדי-שקר ויפח חמס | 12 |
Tompaayo mu balabe bange, kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe, okunkambuwalira.
לולא--האמנתי לראות בטוב-יהוה בארץ חיים | 13 |
Nkyakakasiza ddala nga ndiraba obulungi bwa Mukama mu nsi ey’abalamu.
קוה אל-יהוה חזק ויאמץ לבך וקוה אל-יהוה | 14 |
Lindirira Mukama. Ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Weewaawo, lindirira Mukama.