< תהילים 24 >

לדוד מזמור ליהוה הארץ ומלואה תבל וישבי בה 1
Zabbuli ya Dawudi. Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna, n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
כי-הוא על-ימים יסדה ועל-נהרות יכוננה 2
Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja, n’agizimba ku mazzi amangi.
מי-יעלה בהר-יהוה ומי-יקום במקום קדשו 3
Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya? Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
נקי כפים ובר-לבב אשר לא-נשא לשוא נפשי ולא נשבע למרמה 4
Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu; atasinza bakatonda abalala, era atalayirira bwereere.
ישא ברכה מאת יהוה וצדקה מאלהי ישעו 5
Oyo Mukama anaamuwanga omukisa, n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
זה דור דרשו מבקשי פניך יעקב סלה 6
Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya, Ayi Katonda wa Yakobo.
שאו שערים ראשיכם והנשאו פתחי עולם ויבוא מלך הכבוד 7
Mweggulewo, mmwe bawankaaki! Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda, Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
מי זה מלך הכבוד יהוה עזוז וגבור יהוה גבור מלחמה 8
Kabaka ow’ekitiibwa ye ani? Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza, omuwanguzi mu ntalo.
שאו שערים ראשיכם ושאו פתחי עולם ויבא מלך הכבוד 9
Mweggulewo, mmwe bawankaaki, muggulwewo mmwe enzigi ez’edda! Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
מי הוא זה מלך הכבוד יהוה צבאות-- הוא מלך הכבוד סלה 10
Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani? Mukama Ayinzabyonna; oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.

< תהילים 24 >