< תהילים 20 >
למנצח מזמור לדוד ב יענך יהוה ביום צרה ישגבך שם אלהי יעקב | 1 |
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu. Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
ישלח-עזרך מקדש ומציון יסעדך | 2 |
Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu; akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
יזכר כל-מנחתך ועולתך ידשנה סלה | 3 |
Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa, era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
יתן-לך כלבבך וכל-עצתך ימלא | 4 |
Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga, era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
נרננה בישועתך-- ובשם-אלהינו נדגל ימלא יהוה כל-משאלותיך | 5 |
Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo, ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe. Mukama akuwenga byonna by’omusaba.
עתה ידעתי-- כי הושיע יהוה משיחו יענהו משמי קדשו-- בגברות ישע ימינו | 6 |
Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta, amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo, ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
אלה ברכב ואלה בסוסים ואנחנו בשם-יהוה אלהינו נזכיר | 7 |
Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi, naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
המה כרעו ונפלו ואנחנו קמנו ונתעודד | 8 |
Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo, naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
יהוה הושיעה המלך יעננו ביום-קראנו | 9 |
Ayi Mukama, lokola kabaka, otwanukule bwe tukukoowoola.