< תהילים 19 >
למנצח מזמור לדוד ב השמים מספרים כבוד-אל ומעשה ידיו מגיד הרקיע | 1 |
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda, ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
יום ליום יביע אמר ולילה ללילה יחוה-דעת | 2 |
Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye, era liraga amagezi ge buli kiro.
אין-אמר ואין דברים בלי נשמע קולם | 3 |
Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa, era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
בכל-הארץ יצא קום ובקצה תבל מליהם לשמש שם-אהל בהם | 4 |
Naye obubaka bwabyo bubunye mu nsi yonna. Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
והוא--כחתן יצא מחפתו ישיש כגבור לרוץ ארח | 5 |
Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye, era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
מקצה השמים מוצאו--ותקופתו על-קצותם ואין נסתר מחמתו | 6 |
Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu, ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo, era tewali kyekweka bbugumu lyayo.
תורת יהוה תמימה משיבת נפש עדות יהוה נאמנה מחכימת פתי | 7 |
Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna, era kizzaamu amaanyi mu mwoyo. Etteeka lya Mukama lyesigika, ligeziwaza abatalina magezi.
פקודי יהוה ישרים משמחי-לב מצות יהוה ברה מאירת עינים | 8 |
Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu, kusanyusa omutima gw’oyo akugondera. Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso, bye galaba.
יראת יהוה טהורה--עומדת לעד משפטי-יהוה אמת צדקו יחדו | 9 |
Okutya Mukama kirungi, era kya mirembe gyonna. Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya, era bya butuukirivu ddala.
הנחמדים--מזהב ומפז רב ומתוקים מדבש ונפת צופים | 10 |
Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu, okusingira ddala zaabu ennungi ennyo. Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki, okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
גם-עבדך נזהר בהם בשמרם עקב רב | 11 |
Ebyo bye birabula omuddu wo, era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
שגיאות מי-יבין מנסתרות נקני | 12 |
Ani asobola okulaba ebyonoono bye? Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
גם מזדים חשך עבדך-- אל-ימשלו-בי אז איתם ונקיתי מפשע רב | 13 |
Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere, bireme kunfuga. Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
יהיו לרצון אמרי-פי והגיון לבי לפניך יהוה צורי וגאלי | 14 |
Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange, bisiimibwe mu maaso go, Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.