< תהילים 150 >

הללו-יה הללו-אל בקדשו הללוהו ברקיע עזו 1
Mutendereze Mukama! Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu; mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
הללוהו בגבורתיו הללוהו כרב גדלו 2
Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge; mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
הללוהו בתקע שופר הללוהו בנבל וכנור 3
Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere, mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
הללוהו בתף ומחול הללוהו במנים ועגב 4
Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina; mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
הללוהו בצלצלי-שמע הללוהו בצלצלי תרועה 5
Mumutendereze nga mukuba ebitaasa; mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!
כל הנשמה תהלל יה הללו-יה 6
Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama! Mutendereze Mukama.

< תהילים 150 >