< תהילים 149 >
הללו-יה שירו ליהוה שיר חדש תהלתו בקהל חסידים | 1 |
Mutendereze Mukama! Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.
ישמח ישראל בעשיו בני-ציון יגילו במלכם | 2 |
Isirayiri asanyukirenga eyamutonda; n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
יהללו שמו במחול בתף וכנור יזמרו-לו | 3 |
Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina, bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
כי-רוצה יהוה בעמו יפאר ענוים בישועה | 4 |
Kubanga Mukama asanyukira abantu be, n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
יעלזו חסידים בכבוד ירננו על-משכבותם | 5 |
Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino; bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.
רוממות אל בגרונם וחרב פיפיות בידם | 6 |
Batenderezenga Katonda waabwe, bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
לעשות נקמה בגוים תוכחות בלאמים | 7 |
bawoolere eggwanga, babonereze n’amawanga,
לאסר מלכיהם בזקים ונכבדיהם בכבלי ברזל | 8 |
bateeke bakabaka baago mu njegere, n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
לעשות בהם משפט כתוב-- הדר הוא לכל-חסידיו הללו-יה | 9 |
babasalire omusango ogwabawandiikirwa. Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna. Mutendereze Mukama.