< תהילים 148 >
הללו-יה הללו את-יהוה מן-השמים הללוהו במרומים | 1 |
Mutendereze Mukama! Mumutendereze nga musinziira mu ggulu, mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
הללוהו כל-מלאכיו הללוהו כל-צבאו | 2 |
Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be, mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
הללוהו שמש וירח הללוהו כל-כוכבי אור | 3 |
Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama, nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
הללוהו שמי השמים והמים אשר מעל השמים | 4 |
Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo, naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
יהללו את-שם יהוה כי הוא צוה ונבראו | 5 |
Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama! Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
ויעמידם לעד לעולם חק-נתן ולא יעבור | 6 |
Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna, n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.
הללו את-יהוה מן-הארץ-- תנינים וכל-תהמות | 7 |
Mumutendereze nga musinziira ku nsi, mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
אש וברד שלג וקיטור רוח סערה עשה דברו | 8 |
mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu, naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
ההרים וכל-גבעות עץ פרי וכל-ארזים | 9 |
mmwe agasozi n’obusozi, emiti egy’ebibala n’emivule;
החיה וכל-בהמה רמש וצפור כנף | 10 |
ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna, ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
מלכי-ארץ וכל-לאמים שרים וכל-שפטי ארץ | 11 |
bakabaka b’ensi n’amawanga gonna, abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
בחורים וגם-בתולות זקנים עם-נערים | 12 |
abavubuka abalenzi n’abawala; abantu abakulu n’abaana abato.
יהללו את-שם יהוה-- כי-נשגב שמו לבדו הודו על-ארץ ושמים | 13 |
Bitendereze erinnya lya Mukama, kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa; ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
וירם קרן לעמו תהלה לכל-חסידיו-- לבני ישראל עם קרבו הללו-יה | 14 |
Abantu be abawadde amaanyi, era agulumizizza abatukuvu be, be bantu be Isirayiri abakolagana naye. Mutendereze Mukama.