< תהילים 12 >

למנצח על-השמינית מזמור לדוד ב הושיעה יהוה כי-גמר חסיד כי-פסו אמונים מבני אדם 1
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda; abantu abeesigwa bonna baweddewo.
שוא ידברו--איש את-רעהו שפת חלקות--בלב ולב ידברו 2
Buli muntu alimba munne; akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
יכרת יהוה כל-שפתי חלקות-- לשון מדברת גדלות 3
Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana, na buli lulimi olwenyumiriza;
אשר אמרו ללשננו נגביר--שפתינו אתנו מי אדון לנו 4
nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe, kubanga ani alitukuba ku mukono.”
משד עניים מאנקת אביונים עתה אקום יאמר יהוה אשית בישע יפיח לו 5
Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu, n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu, nnaasituka kaakano ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
אמרות יהוה אמרות טהרות כסף צרוף בעליל לארץ מזקק שבעתים 6
Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima. Bigeraageranyizibwa n’effeeza erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.
אתה-יהוה תשמרם תצרנו מן-הדור זו לעולם 7
Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga, n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
סביב רשעים יתהלכון כרם זלות לבני אדם 8
Ababi beeyisaayisa nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

< תהילים 12 >