< תהילים 116 >

אהבתי כי-ישמע יהוה-- את-קולי תחנוני 1
Mukama mmwagala, kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
כי-הטה אזנו לי ובימי אקרא 2
Kubanga ateze okutu kwe gye ndi, kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.
אפפוני חבלי-מות--ומצרי שאול מצאוני צרה ויגון אמצא (Sheol h7585) 3
Emiguwa gy’okufa gyansiba, n’okulumwa okw’emagombe kwankwata; ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya. (Sheol h7585)
ובשם-יהוה אקרא אנה יהוה מלטה נפשי 4
Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti, “Ayi Mukama, ndokola.”
חנון יהוה וצדיק ואלהינו מרחם 5
Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Katonda waffe ajjudde okusaasira.
שמר פתאים יהוה דלתי ולי יהושיע 6
Mukama alabirira abantu abaabulijjo; bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.
שובי נפשי למנוחיכי כי-יהוה גמל עליכי 7
Wummula ggwe emmeeme yange, kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
כי חלצת נפשי ממות את-עיני מן-דמעה את-רגלי מדחי 8
Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa, n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba; n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
אתהלך לפני יהוה-- בארצות החיים 9
ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama mu nsi ey’abalamu.
האמנתי כי אדבר אני עניתי מאד 10
Nakkiriza kyennava njogera nti, “Numizibbwa nnyo.”
אני אמרתי בחפזי כל-האדם כזב 11
Ne njogera nga nterebuse nti, “Abantu bonna baliraba.”
מה-אשיב ליהוה-- כל-תגמולוהי עלי 12
Mukama ndimusasula ntya olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
כוס-ישועות אשא ובשם יהוה אקרא 13
Nditoola ekikompe eky’obulokozi, ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
נדרי ליהוה אשלם נגדה-נא לכל-עמו 14
Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g’abantu be bonna.
יקר בעיני יהוה-- המותה לחסידיו 15
Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
אנה יהוה כי-אני עבדך אני-עבדך בן-אמתך פתחת למוסרי 16
Ayi Mukama, onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe, nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.
לך-אזבח זבח תודה ובשם יהוה אקרא 17
Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza, ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
נדרי ליהוה אשלם נגדה-נא לכל-עמו 18
Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g’abantu be bonna,
בחצרות בית יהוה-- בתוככי ירושלם הללו-יה 19
mu mpya z’ennyumba ya Mukama; wakati wo, ggwe Yerusaalemi. Mutendereze Mukama.

< תהילים 116 >