< תהילים 115 >

לא לנו יהוה לא-לנו כי-לשמך תן כבוד--על-חסדך על-אמתך 1
Si ffe, Ayi Mukama, si ffe. Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa, olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.
למה יאמרו הגוים איה-נא אלהיהם 2
Lwaki amawanga gabuuza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?”
ואלהינו בשמים-- כל אשר-חפץ עשה 3
Katonda waffe ali mu ggulu; akola buli ky’ayagala.
עצביהם כסף וזהב מעשה ידי אדם 4
Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu, ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
פה-להם ולא ידברו עינים להם ולא יראו 5
Birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba.
אזנים להם ולא ישמעו אף להם ולא יריחון 6
Birina amatu, naye tebiwulira; birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
ידיהם ולא ימישון--רגליהם ולא יהלכו לא-יהגו בגרונם 7
Birina engalo, naye tebikwata; birina ebigere, naye tebitambula; ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
כמוהם יהיו עשיהם-- כל אשר-בטח בהם 8
abakozi ababikola, n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.
ישראל בטח ביהוה עזרם ומגנם הוא 9
Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
בית אהרן בטחו ביהוה עזרם ומגנם הוא 10
Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
יראי יהוה בטחו ביהוה עזרם ומגנם הוא 11
Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.
יהוה זכרנו יברך יברך את-בית ישראל יברך את-בית אהרן 12
Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa. Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa; ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
יברך יראי יהוה-- הקטנים עם-הגדלים 13
n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa, Mukama anaabawanga omukisa.
יסף יהוה עליכם עליכם ועל בניכם 14
Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi, mmwe n’abaana bammwe.
ברוכים אתם ליהוה-- עשה שמים וארץ 15
Mukama, eyakola eggulu n’ensi, abawe omukisa.
השמים שמים ליהוה והארץ נתן לבני-אדם 16
Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama, naye ensi yagiwa abantu bonna.
לא המתים יהללו-יה ולא כל-ירדי דומה 17
Abafu tebatendereza Mukama, wadde abo abaserengeta emagombe.
ואנחנו נברך יה-- מעתה ועד-עולם הללו-יה 18
Naye ffe tunaatenderezanga Mukama, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama!

< תהילים 115 >