< תהילים 113 >
הללו-יה הללו עבדי יהוה הללו את-שם יהוה | 1 |
Mutendereze Mukama! Mumutendereze, mmwe abaweereza be, mutendereze erinnya lya Mukama.
יהי שם יהוה מברך-- מעתה ועד-עולם | 2 |
Erinnya lya Mukama litenderezebwe okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
ממזרח-שמש עד-מבואו-- מהלל שם יהוה | 3 |
Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa, erinnya lya Mukama litenderezebwenga.
רם על-כל-גוים יהוה על השמים כבודו | 4 |
Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna, era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
מי כיהוה אלהינו-- המגביהי לשבת | 5 |
Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
המשפילי לראות-- בשמים ובארץ | 6 |
ne yeetoowaza okutunuulira eggulu n’ensi?
מקימי מעפר דל מאשפת ירים אביון | 7 |
Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu; n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
להושיבי עם-נדיבים עם נדיבי עמו | 8 |
n’abatuuza wamu n’abalangira, awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
מושיבי עקרת הבית-- אם-הבנים שמחה הללו-יה | 9 |
Omukazi omugumba amuwa abaana, n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu. Mutendereze Mukama!