< תהילים 107 >
הדו ליהוה כי-טוב כי לעולם חסדו | 1 |
Mwebaze Mukama, kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
יאמרו גאולי יהוה-- אשר גאלם מיד-צר | 2 |
Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo; abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
ומארצות קבצם ממזרח וממערב מצפון ומים | 3 |
abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba, n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.
תעו במדבר בישימון דרך עיר מושב לא מצאו | 4 |
Abamu baataataaganira mu malungu nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
רעבים גם-צמאים-- נפשם בהם תתעטף | 5 |
Baalumwa ennyonta n’enjala, obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
ויצעקו אל-יהוה בצר להם ממצוקותיהם יצילם | 6 |
Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi; n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
וידריכם בדרך ישרה-- ללכת אל-עיר מושב | 7 |
Yabakulembera butereevu n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
יודו ליהוה חסדו ונפלאותיו לבני אדם | 8 |
Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
כי-השביע נפש שקקה ונפש רעבה מלא-טוב | 9 |
Kubanga abalina ennyonta abanywesa, n’abayala abakkusa ebirungi.
ישבי חשך וצלמות אסירי עני וברזל | 10 |
Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa; abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi;
כי-המרו אמרי-אל ועצת עליון נאצו | 11 |
kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda, ne banyoomoola amagezi g’oyo Ali Waggulu Ennyo.
ויכנע בעמל לבם כשלו ואין עזר | 12 |
Baakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike; baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.
ויזעקו אל-יהוה בצר להם ממצקותיהם יושיעם | 13 |
Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe, era n’abawonya;
יוציאם מחשך וצלמות ומוסרותיהם ינתק | 14 |
n’abaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa; n’enjegere ezaali zibasibye n’azikutula.
יודו ליהוה חסדו ונפלאותיו לבני אדם | 15 |
Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
כי-שבר דלתות נחשת ובריחי ברזל גדע | 16 |
Kubanga enzigi ez’ebikomo azaasaayasa, n’emitayimbwa egy’ekyuma agimenyamu.
אולים מדרך פשעם ומעונתיהם יתענו | 17 |
Abamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe; ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi.
כל-אכל תתעב נפשם ויגיעו עד-שערי מות | 18 |
Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.
ויזעקו אל-יהוה בצר להם ממצקותיהם יושיעם | 19 |
Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo, n’abawonya.
ישלח דברו וירפאם וימלט משחיתותם | 20 |
Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe; n’abalokola mu kuzikirira.
יודו ליהוה חסדו ונפלאותיו לבני אדם | 21 |
Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
ויזבחו זבחי תודה ויספרו מעשיו ברנה | 22 |
Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza, era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.
] יורדי הים באניות עשי מלאכה במים רבים | 23 |
Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja; baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.
] המה ראו מעשי יהוה ונפלאותיו במצולה | 24 |
Baalaba Mukama bye yakola, ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.
] ויאמר--ויעמד רוח סערה ותרומם גליו | 25 |
Kubanga yalagira omuyaga ne gusitula amayengo waggulu.
] יעלו שמים ירדו תהומות נפשם ברעה תתמוגג | 26 |
Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi; akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.
] יחוגו וינועו כשכור וכל-חכמתם תתבלע | 27 |
Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala; n’amagezi ne gabaggwaako.
] ויצעקו אל-יהוה בצר להם וממצוקתיהם יוציאם | 28 |
Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu; n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
יקם סערה לדממה ויחשו גליהם | 29 |
Omuyaga yagusirisa, ennyanja n’etteeka.
וישמחו כי-ישתקו וינחם אל-מחוז חפצם | 30 |
Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka; n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
יודו ליהוה חסדו ונפלאותיו לבני אדם | 31 |
Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
וירוממוהו בקהל-עם ובמושב זקנים יהללוהו | 32 |
Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye, era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.
ישם נהרות למדבר ומצאי מים לצמאון | 33 |
Afuula emigga amalungu, n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,
ארץ פרי למלחה מרעת יושבי בה | 34 |
ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.
ישם מדבר לאגם-מים וארץ ציה למצאי מים | 35 |
Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi, n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,
ויושב שם רעבים ויכוננו עיר מושב | 36 |
abalina enjala n’abateeka omwo, ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu,
ויזרעו שדות ויטעו כרמים ויעשו פרי תבואה | 37 |
ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu, ne bakungula ebibala bingi.
ויברכם וירבו מאד ובהמתם לא ימעיט | 38 |
Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi; n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.
וימעטו וישחו-- מעצר רעה ויגון | 39 |
Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa olw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku;
] שפך בוז על-נדיבים ויתעם בתהו לא-דרך | 40 |
oyo anyooma n’abakungu, n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.
וישגב אביון מעוני וישם כצאן משפחות | 41 |
Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona, n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo.
יראו ישרים וישמחו וכל-עולה קפצה פיה | 42 |
Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka; naye abakola ebibi bo basirika busirisi.
מי-חכם וישמר-אלה ויתבוננו חסדי יהוה | 43 |
Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.