< תהילים 105 >

הודו ליהוה קראו בשמו הודיעו בעמים עלילותיו 1
Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye; amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
שירו-לו זמרו-לו שיחו בכל-נפלאותיו 2
Mumuyimbire, mumutendereze; muyimbe ku byamagero bye.
התהללו בשם קדשו ישמח לב מבקשי יהוה 3
Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza; emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
דרשו יהוה ועזו בקשו פניו תמיד 4
Munoonye Mukama n’amaanyi ge; mumunoonyenga ennaku zonna.
זכרו--נפלאותיו אשר-עשה מפתיו ומשפטי-פיו 5
Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola, ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
זרע אברהם עבדו בני יעקב בחיריו 6
mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
הוא יהוה אלהינו בכל-הארץ משפטיו 7
Ye Mukama Katonda waffe; ye alamula mu nsi yonna.
זכר לעולם בריתו דבר צוה לאלף דור 8
Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna, kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
אשר כרת את-אברהם ושבועתו לישחק 9
ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu, era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
ויעמידה ליעקב לחק לישראל ברית עולם 10
Yakikakasa Yakobo ng’etteeka, n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
לאמר--לך אתן את-ארץ-כנען חבל נחלתכם 11
“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani okuba omugabo gwo.”
בהיותם מתי מספר כמעט וגרים בה 12
Bwe baali bakyali batono, nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,
ויתהלכו מגוי אל-גוי מממלכה אל-עם אחר 13
baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala, ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.
לא-הניח אדם לעשקם ויוכח עליהם מלכים 14
Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi; n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,
אל-תגעו במשיחי ולנביאי אל-תרעו 15
“Abalonde bange, ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”
ויקרא רעב על-הארץ כל-מטה-לחם שבר 16
Yaleeta enjala mu nsi, emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
שלח לפניהם איש לעבד נמכר יוסף 17
N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso, ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
ענו בכבל רגליו (רגלו) ברזל באה נפשו 18
ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya, obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
עד-עת בא-דברו-- אמרת יהוה צרפתהו 19
okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira, okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
שלח מלך ויתירהו משל עמים ויפתחהו 20
Kabaka n’atuma ne bamusumulula; omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
שמו אדון לביתו ומשל בכל-קנינו 21
Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge, n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
לאסר שריו בנפשו וזקניו יחכם 22
okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga, n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.
ויבא ישראל מצרים ויעקב גר בארץ-חם 23
Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri; Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
ויפר את-עמו מאד ויעצמהו מצריו 24
Mukama n’ayaza nnyo abantu be; ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
הפך לבם לשנא עמו להתנכל בעבדיו 25
n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be, ne basalira abaweereza be enkwe.
שלח משה עבדו אהרן אשר בחר-בו 26
Yatuma abaweereza be Musa ne Alooni, be yalonda.
שמו-בם דברי אתותיו ומפתים בארץ חם 27
Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo; ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.
שלח חשך ויחשך ולא-מרו את-דבריו (דברו) 28
Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata, kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.
הפך את-מימיהם לדם וימת את-דגתם 29
Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi, ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.
שרץ ארצם צפרדעים בחדרי מלכיהם 30
Ensi yaabwe yajjula ebikere, ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.
אמר ויבא ערב כנים בכל-גבולם 31
Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja, n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.
נתן גשמיהם ברד אש להבות בארצם 32
Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira; eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.
ויך גפנם ותאנתם וישבר עץ גבולם 33
Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu, n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.
אמר ויבא ארבה וילק ואין מספר 34
Yalagira, enzige ne zijja ne bulusejjera obutabalika muwendo.
ויאכל כל-עשב בארצם ויאכל פרי אדמתם 35
Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe, na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.
ויך כל-בכור בארצם ראשית לכל-אונם 36
N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe, nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.
ויוציאם בכסף וזהב ואין בשבטיו כושל 37
Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu; era bonna baali ba maanyi.
שמח מצרים בצאתם כי-נפל פחדם עליהם 38
Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze, kubanga baali batandise okubatiira ddala.
פרש ענן למסך ואש להאיר לילה 39
Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka, n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
שאל ויבא שלו ולחם שמים ישביעם 40
Baamusaba, n’abaweereza enkwale era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
פתח צור ויזובו מים הלכו בציות נהר 41
Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika, ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.
כי-זכר את-דבר קדשו את-אברהם עבדו 42
Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
ויוצא עמו בששון ברנה את-בחיריו 43
Abantu be yabaggyayo nga bajaguza, abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
ויתן להם ארצות גוים ועמל לאמים יירשו 44
Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala, ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
בעבור ישמרו חקיו-- ותורתיו ינצרו הללו-יה 45
balyoke bakwatenga amateeka ge, era bagonderenga ebiragiro bye. Mumutendereze Mukama.

< תהילים 105 >