< תהילים 102 >
תפלה לעני כי-יעטף-- ולפני יהוה ישפך שיחו ב יהוה שמעה תפלתי ושועתי אליך תבוא | 1 |
Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama. Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
אל-תסתר פניך ממני-- ביום צר-לי הטה-אלי אזנך ביום אקרא מהר ענני | 2 |
Tonneekweka mu biseera eby’obuyinike bwange. Ntegera okutu kwo onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!
כי-כלו בעשן ימי ועצמותי כמוקד נחרו | 3 |
Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka, n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
הוכה-כעשב ויבש לבי כי-שכחתי מאכל לחמי | 4 |
Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose; neerabira n’okulya emmere yange.
מקול אנחתי-- דבקה עצמי לבשרי | 5 |
Olw’okwaziirana kwange okunene, nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
דמיתי לקאת מדבר הייתי ככוס חרבות | 6 |
Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu, era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
שקדתי ואהיה-- כצפור בודד על-גג | 7 |
Nsula ntunula, nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
כל-היום חרפוני אויבי מהוללי בי נשבעו | 8 |
Abalabe bange banvuma olunaku lwonna; abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
כי-אפר כלחם אכלתי ושקוי בבכי מסכתי | 9 |
Kubanga ndya evvu ng’alya emmere, n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
מפני-זעמך וקצפך-- כי נשאתני ותשליכני | 10 |
Olw’obusungu n’okunyiiga kwo; onneegobyeko n’onsuula eyo.
ימי כצל נטוי ואני כעשב איבש | 11 |
Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba; mpotoka ng’omuddo.
ואתה יהוה לעולם תשב וזכרך לדר ודר | 12 |
Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe; erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
אתה תקום תרחם ציון כי-עת לחננה כי-בא מועד | 13 |
Olisituka n’osaasira Sayuuni, kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano; ekiseera kye wateekateeka kituuse.
כי-רצו עבדיך את-אבניה ואת-עפרה יחננו | 14 |
Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo, n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
וייראו גוים את-שם יהוה וכל-מלכי הארץ את-כבודך | 15 |
Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama; ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
כי-בנה יהוה ציון-- נראה בכבודו | 16 |
Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto, era n’alabika mu kitiibwa kye.
פנה אל-תפלת הערער ולא-בזה את-תפלתם | 17 |
Alyanukula okusaba kw’abanaku; talinyooma kwegayirira kwabwe.
תכתב זאת לדור אחרון ועם נברא יהלל-יה | 18 |
Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja, abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
כי-השקיף ממרום קדשו יהוה משמים אל-ארץ הביט | 19 |
Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu; Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
לשמע אנקת אסיר לפתח בני תמותה | 20 |
okuwulira okusinda kw’abasibe, n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
לספר בציון שם יהוה ותהלתו בירושלם | 21 |
Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni, bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
בהקבץ עמים יחדו וממלכות לעבד את-יהוה | 22 |
abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka, okusinza Mukama.
ענה בדרך כחו (כחי) קצר ימי | 23 |
Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka; akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
אמר--אלי אל תעלני בחצי ימי בדור דורים שנותיך | 24 |
Ne ndyoka mmukaabira nti, “Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange, ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
לפנים הארץ יסדת ומעשה ידיך שמים | 25 |
Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi; n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
המה יאבדו-- ואתה תעמד וכלם כבגד יבלו כלבוש תחליפם ויחלפו | 26 |
Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo. Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
ואתה-הוא ושנותיך לא יתמו | 27 |
Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera n’emyaka gyo tegirikoma.
בני-עבדיך ישכונו וזרעם לפניך יכון | 28 |
Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe; ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”