< תהילים 100 >
מזמור לתודה הריעו ליהוה כל-הארץ | 1 |
Zabbuli ey’okwebaza. Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.
עבדו את-יהוה בשמחה באו לפניו ברננה | 2 |
Muweereze Mukama n’essanyu; mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.
דעו-- כי יהוה הוא אלהים הוא-עשנו ולא (ולו) אנחנו-- עמו וצאן מרעיתו | 3 |
Mumanye nga Mukama ye Katonda; ye yatutonda, tuli babe, tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.
באו שעריו בתודה--חצרתיו בתהלה הודו-לו ברכו שמו | 4 |
Muyingire mu miryango gye nga mwebaza, ne mu mpya ze n’okutendereza; mumwebaze mutendereze erinnya lye.
כי-טוב יהוה לעולם חסדו ועד-דר ודר אמונתו | 5 |
Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera; n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.