< מִשְׁלֵי 8 >
הלא-חכמה תקרא ותבונה תתן קולה | 1 |
Amagezi tegakoowoolera waggulu, n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?
בראש-מרמים עלי-דרך בית נתיבות נצבה | 2 |
Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo, mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,
ליד-שערים לפי-קרת מבוא פתחים תרנה | 3 |
ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga, ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,
אליכם אישים אקרא וקולי אל-בני אדם | 4 |
Mmwe abantu, mmwe b’empita; nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.
הבינו פתאים ערמה וכסילים הבינו לב | 5 |
Mmwe abatategeera mufune okutegeera; nammwe abasirusiru mufune amagezi.
שמעו כי-נגידים אדבר ומפתח שפתי מישרים | 6 |
Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba, era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.
כי-אמת יהגה חכי ותועבת שפתי רשע | 7 |
Akamwa kange koogera bituufu byereere; kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.
בצדק כל-אמרי-פי אין בהם נפתל ועקש | 8 |
Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.
כלם נכחים למבין וישרים למצאי דעת | 9 |
Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera, era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.
קחו-מוסרי ואל-כסף ודעת מחרוץ נבחר | 10 |
Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange, era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,
כי-טובה חכמה מפנינים וכל-חפצים לא ישוו-בה | 11 |
kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi, era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.
אני-חכמה שכנתי ערמה ודעת מזמות אמצא | 12 |
Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi, era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.
יראת יהוה שנאת-רע גאה וגאון ודרך רע ופי תהפכות שנאתי | 13 |
Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa amalala n’okwemanya, n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
לי-עצה ותושיה אני בינה לי גבורה | 14 |
Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange; ntegeera era ndi wa buyinza.
בי מלכים ימלכו ורזנים יחקקו צדק | 15 |
Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga, abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya.
בי שרים ישרו ונדיבים כל-שפטי צדק | 16 |
Abalangira bafuga ku bwange, n’abakungu bonna abafuga ku nsi.
אני אהביה (אהבי) אהב ומשחרי ימצאנני | 17 |
Njagala abo abanjagala, n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba.
עשר-וכבוד אתי הון עתק וצדקה | 18 |
Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze, obugagga obutakoma n’okukulaakulana.
טוב פריי מחרוץ ומפז ותבואתי מכסף נבחר | 19 |
Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose, n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi.
בארח-צדקה אהלך בתוך נתיבות משפט | 20 |
Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu, mu kkubo ery’obwenkanya,
להנחיל אהבי יש ואצרתיהם אמלא | 21 |
n’abo abanjagala mbagaggawaza era nzijuza amawanika gaabwe.
יהוה--קנני ראשית דרכו קדם מפעליו מאז | 22 |
Mukama nze gwe yasooka okwoleka nga tannabaako kirala ky’akola.
מעולם נסכתי מראש-- מקדמי-ארץ | 23 |
Nateekebwawo dda nnyo, ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.
באין-תהמות חוללתי באין מעינות נכבדי-מים | 24 |
Nateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo, nga n’emigga egireeta amazzi teginnabaawo,
בטרם הרים הטבעו לפני גבעות חוללתי | 25 |
ng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo, nga n’obusozi tebunnabaawo;
עד-לא עשה ארץ וחוצות וראש עפרות תבל | 26 |
nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo, wadde enfuufu eyasooka ey’oku nsi.
בהכינו שמים שם אני בחקו חוג על-פני תהום | 27 |
Naliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo, ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba,
באמצו שחקים ממעל בעזוז עינות תהום | 28 |
ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga, n’anywereza ddala ensulo z’amazzi,
בשומו לים חקו ומים לא יעברו-פיו בחוקו מוסדי ארץ | 29 |
bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma, amazzi galeme kusukka we yagalagira, ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.
ואהיה אצלו אמון ואהיה שעשועים יום יום משחקת לפניו בכל-עת | 30 |
Nnali naye ng’omukozi omukugu, nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku, nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo,
משחקת בתבל ארצו ושעשעי את-בני אדם | 31 |
nga nsanyukira mu nsi ye yonna, era nga ne nesiima olw’abaana b’abantu.
ועתה בנים שמעו-לי ואשרי דרכי ישמרו | 32 |
Kale nno, batabani bange mumpulirize; balina omukisa abo abakwata amakubo gange!
שמעו מוסר וחכמו ואל-תפרעו | 33 |
Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi, so temugalekanga.
אשרי אדם שמע-לי לשקד על-דלתתי יום יום--לשמר מזוזת פתחי | 34 |
Alina omukisa omuntu ampuliriza, alindirira nga bw’akuuma ku nzigi zange buli lunaku.
כי מצאי מצאי (מצא) חיים ויפק רצון מיהוה | 35 |
Kubanga buli andaba afuna obulamu, era afuna okuganja eri Mukama.
וחטאי חמס נפשו כל-משנאי אהבו מות | 36 |
Oyo atannoonya yeerumya yekka, era n’abo bonna abankyawa banoonya kufa.