< מִשְׁלֵי 5 >

בני לחכמתי הקשיבה לתבונתי הט-אזנך 1
Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange, era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,
לשמר מזמות ודעת שפתיך ינצרו 2
olyoke oyige okusalawo okw’amagezi, era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.
כי נפת תטפנה שפתי זרה וחלק משמן חכה 3
Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki, n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
ואחריתה מרה כלענה חדה כחרב פיות 4
naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
רגליה ירדות מות שאול צעדיה יתמכו (Sheol h7585) 5
Ebigere bye bituuka mu kufa, ebisinde bye biraga emagombe. (Sheol h7585)
ארח חיים פן-תפלס נעו מעגלתיה לא תדע 6
Tafaayo ku kkubo lya bulamu, amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.
ועתה בנים שמעו-לי ואל-תסורו מאמרי-פי 7
Kaakano, batabani bange mumpulirize, temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.
הרחק מעליה דרכך ואל-תקרב אל-פתח ביתה 8
Mwewalenga omukazi oyo era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;
פן-תתן לאחרים הודך ושנתיך לאכזרי 9
si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe, n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,
פן-ישבעו זרים כחך ועצביך בבית נכרי 10
ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza, n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.
ונהמת באחריתך בכלות בשרך ושארך 11
Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda, ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.
ואמרת--איך שנאתי מוסר ותוכחת נאץ לבי 12
Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa, n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,
ולא-שמעתי בקול מורי ולמלמדי לא-הטיתי אזני 13
era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange, wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.
כמעט הייתי בכל-רע-- בתוך קהל ועדה 14
Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.”
שתה-מים מבורך ונזלים מתוך בארך 15
Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo, n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.
יפוצו מעינתיך חוצה ברחבות פלגי-מים 16
Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo, n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?
יהיו-לך לבדך ואין לזרים אתך 17
Leka bibeere bibyo wekka, bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.
יהי-מקורך ברוך ושמח מאשת נעורך 18
Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa, era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.
אילת אהבים ויעלת-חן דדיה ירוך בכל-עת באהבתה תשגה תמיד 19
Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa, leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.
ולמה תשגה בני בזרה ותחבק חק נכריה 20
Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi, n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?
כי נכח עיני יהוה--דרכי-איש וכל-מעגלתיו מפלס 21
Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna, era n’akebera n’amakubo ge gonna.
עוונתיו--ילכדנו את-הרשע ובחבלי חטאתו יתמך 22
Ebikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego, era emiguwa gy’ebikolwa bye ebibi girimusibira ddala.
הוא--ימות באין מוסר וברב אולתו ישגה 23
Alifa, kubanga yagaana okwekuuma, era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi.

< מִשְׁלֵי 5 >