< מִשְׁלֵי 31 >

דברי למואל מלך-- משא אשר-יסרתו אמו 1
Ebigambo bya kabaka Lemweri bye yayogera, nnyina bye yamuyigiriza.
מה-ברי ומה-בר-בטני ומה בר-נדרי 2
Ggwe mutabani wange, ggwe mutabani w’enda yange, ggwe mutabani w’obweyamo bwange.
אל-תתן לנשים חילך ודרכיך למחות מלכין 3
Tomaliranga maanyi go ku bakazi, newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka.
אל למלכים למואל--אל למלכים שתו-יין ולרוזנים או (אי) שכר 4
Ggwe Lemweri, si kya bakabaka, si kya bakabaka okunywanga omwenge, so si kya balangira okwegombanga omwenge,
פן-ישתה וישכח מחקק וישנה דין כל-בני-עני 5
si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka, ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.
תנו-שכר לאובד ויין למרי נפש 6
Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa, n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike.
ישתה וישכח רישו ועמלו לא יזכר-עוד 7
Mumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe, alemenga kujjukira nate buyinike bwe.
פתח-פיך לאלם אל-דין כל-בני חלוף 8
Yogereranga abo abatasobola kweyogerera, otunulenga mu nsonga z’abo bonna abaasigala ettayo.
פתח-פיך שפט-צדק ודין עני ואביון 9
Yogera olamulenga n’obwenkanya, olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.
אשת-חיל מי ימצא ורחק מפנינים מכרה 10
Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.
בטח בה לב בעלה ושלל לא יחסר 11
Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna, era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.
גמלתהו טוב ולא-רע-- כל ימי חייה 12
Aleetera bba essanyu so tamukola kabi, obulamu bwe bwonna.
דרשה צמר ופשתים ותעש בחפץ כפיה 13
Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba, n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.
היתה כאניות סוחר ממרחק תביא לחמה 14
Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi, aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.
ותקם בעוד לילה--ותתן טרף לביתה וחק לנערתיה 15
Agolokoka tebunnakya, n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya, n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola.
זממה שדה ותקחהו מפרי כפיה נטע (נטעה) כרם 16
Alowooza ku nnimiro n’agigula; asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.
חגרה בעוז מתניה ותאמץ זרועתיה 17
Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe, emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye.
טעמה כי-טוב סחרה לא-יכבה בליל (בלילה) נרה 18
Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula, era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.
ידיה שלחה בכישור וכפיה תמכו פלך 19
Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe, engalo ze ne zikwata akati akalanga.
כפה פרשה לעני וידיה שלחה לאביון 20
Ayanjululiza abaavu omukono gwe, n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.
לא-תירא לביתה משלג כי כל-ביתה לבש שנים 21
Mu biseera by’obutiti taba na kutya, kubanga ab’omu nnyumba ye bonna baba n’engoye ez’okwambala.
מרבדים עשתה-לה שש וארגמן לבושה 22
Yeekolera ebibikka obuliri bwe, era engoye ze za linena omulungi, za ffulungu.
נודע בשערים בעלה בשבתו עם-זקני-ארץ 23
Bba amanyibbwa, y’omu ku bakulu abakulembera ensi, era ateeseza mu nkiiko enkulu.
סדין עשתה ותמכר וחגור נתנה לכנעני 24
Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda, n’aguza abasuubuzi enkoba.
עז-והדר לבושה ותשחק ליום אחרון 25
Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye, era tatya ebiro ebigenda okujja.
פיה פתחה בחכמה ותורת חסד על-לשונה 26
Ayogera n’amagezi, era ayigiriza ebyekisa.
צופיה הילכות (הליכות) ביתה ולחם עצלות לא תאכל 27
Alabirira nnyo empisa z’ab’omu nnyumba ye, era talya mmere ya bugayaavu.
קמו בניה ויאשרוה בעלה ויהללה 28
Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa, ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,
רבות בנות עשו חיל ואת עלית על-כלנה 29
“Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa naye bonna ggwe obasinga.”
שקר החן והבל היפי אשה יראת-יהוה היא תתהלל 30
Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa, naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.
תנו-לה מפרי ידיה ויהללוה בשערים מעשיה 31
Mumusasule empeera gy’akoleredde, n’emirimu gye gimuweesenga ettendo ku miryango gy’ekibuga.

< מִשְׁלֵי 31 >