< מִשְׁלֵי 29 >

איש תוכחות מקשה-ערף-- פתע ישבר ואין מרפא 1
Omuntu akakanyaza omutima gwe oluvannyuma lw’okunenyezebwa emirundi emingi, alizikirira ng’atamanyiridde awatali kuwona.
ברבות צדיקים ישמח העם ובמשל רשע יאנח עם 2
Abatuukirivu bwe bakulaakulana, abantu basanyuka, naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuga abantu babeera mu kusinda.
איש-אהב חכמה ישמח אביו ורעה זונות יאבד-הון 3
Ayagala amagezi asanyusa kitaawe, naye munne w’abamalaaya ayiwaayiwa obugagga bwe.
מלך--במשפט יעמיד ארץ ואיש תרומות יהרסנה 4
Kabaka afuga n’obwenkanya, abantu be baba mu butebenkevu, naye oyo alulunkanira enguzi, ensi agyonoona.
גבר מחליק על-רעהו רשת פורש על-פעמיו 5
Omuntu awaanawaana munne, aba yeetega yekka ekitimba.
בפשע איש רע מוקש וצדיק ירון ושמח 6
Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega, naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.
ידע צדיק דין דלים רשע לא-יבין דעת 7
Omutuukirivu afaayo ku nsonga z’abaavu, naye abakozi b’ebibi tebakola bwe batyo.
אנשי לצון יפיחו קריה וחכמים ישיבו אף 8
Abakudaazi basasamaza ekibuga, naye abantu abalina amagezi baziyiza entalo.
איש-חכם--נשפט את-איש אויל ורגז ושחק ואין נחת 9
Omuntu ow’amagezi bw’awoza n’omusirusiru, omusirusiru ayongera kusunguwala, n’okujerega ne wataba mirembe.
אנשי דמים ישנאו-תם וישרים יבקשו נפשו 10
Abeegomba okuyiwa omusaayi bakyawa omuntu ow’amazima, era banoonya okusaanyaawo obulamu bwe.
כל-רוחו יוציא כסיל וחכם באחור ישבחנה 11
Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna, naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.
משל מקשיב על-דבר-שקר-- כל-משרתיו רשעים 12
Omufuzi bw’awuliriza eby’obulimba, abakungu be bonna bafuuka babi.
רש ואיש תככים נפגשו-- מאיר עיני שניהם יהוה 13
Omwavu n’oyo amubonyaabonya balina ekibagatta: Mukama bombi ye yabawa amaaso.
מלך שופט באמת דלים-- כסאו לעד יכון 14
Kabaka bw’asalira abaavu emisango n’obwesigwa, obufuzi bwe bubeerera emirembe gyonna.
שבט ותוכחת יתן חכמה ונער משלח מביש אמו 15
Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi, naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.
ברבות רשעים ירבה-פשע וצדיקים במפלתם יראו 16
Abakozi b’ebibi bwe beeyongera obungi, okumenya amateeka kweyongera, naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe.
יסר בנך ויניחך ויתן מעדנים לנפשך 17
Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe, alireetera emmeeme yo essanyu.
באין חזון יפרע עם ושמר תורה אשרהו 18
Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza, naye wa mukisa oyo akuuma amateeka ga Mukama.
בדברים לא-יוסר עבד כי-יבין ואין מענה 19
Omuweereza tayinza kubuulirirwa na bigambo byokka; ne bw’aba ategedde tafaayo.
חזית--איש אץ בדבריו תקוה לכסיל ממנו 20
Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru alina essuubi okumusinga.
מפנק מנער עבדו ואחריתו יהיה מנון 21
Atiitiibya omuweereza we ekiyitiridde ng’akyali mwana muto, oluvannyuma omuweereza aleetera mukama we obuyinike.
איש-אף יגרה מדון ובעל חמה רב-פשע 22
Omuntu ow’obusungu aleeta ennyombo, n’omuntu asunguwala amangu ayonoona nnyo.
גאות אדם תשפילנו ושפל-רוח יתמך כבוד 23
Amalala g’omuntu galimuleetera okugwa, naye omuntu ow’omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
חולק עם-גנב שונא נפשו אלה ישמע ולא יגיד 24
Buli assa ekimu n’omubbi akyawa obulamu bwe ye, era ne bw’alayizibwa tasaanira kubaako ky’ayogera.
חרדת אדם יתן מוקש ובוטח ביהוה ישגב 25
Okutya omuntu kuleeta ekyambika, naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
רבים מבקשים פני-מושל ומיהוה משפט-איש 26
Bangi abanoonya okuganja mu maaso g’omufuzi, naye obwenkanya obwa nnama ddala buva eri Mukama.
תועבת צדיקים איש עול ותועבת רשע ישר-דרך 27
Atali mutuukirivu wa muzizo eri abatuukirivu; era omwesimbu wa muzizo eri abakozi b’ebibi.

< מִשְׁלֵי 29 >