< מִשְׁלֵי 21 >

פלגי-מים לב-מלך ביד-יהוה על-כל-אשר יחפץ יטנו 1
Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama, era agukyusiza gy’ayagala yonna.
כל-דרך-איש ישר בעיניו ותכן לבות יהוה 2
Buli kkubo lya muntu liba ng’ettuufu mu maaso ge, naye Mukama apima omutima.
עשה צדקה ומשפט-- נבחר ליהוה מזבח 3
Okukola ebituufu n’eby’amazima kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.
רום-עינים ורחב-לב-- נר רשעים חטאת 4
Amaaso ageegulumiza, n’omutima ogw’amalala, ye ttabaaza y’ababi, era ebyo kwonoona.
מחשבות חרוץ אך-למותר וכל-אץ אך-למחסור 5
Enteekateeka z’omunyiikivu zivaamu magoba meereere, naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.
פעל אצרות בלשון שקר-- הבל נדף מבקשי-מות 6
Okufuna obugagga n’olulimi olulimba, mpewo buwewo etwalibwa eruuyi n’eruuyi era mutego gwa kufa.
שד-רשעים יגורם כי מאנו לעשות משפט 7
Obukambwe bw’ababi bulibamalawo, kubanga bagaana okukola eby’ensonga.
הפכפך דרך איש וזר וזך ישר פעלו 8
Ekkubo ly’abazza emisango liba kyamu, naye ery’abataliiko musango liba golokofu.
טוב לשבת על-פנת-גג-- מאשת מדינים ובית חבר 9
Okusula ku kasolya k’ennyumba, kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.
נפש רשע אותה-רע לא-יחן בעיניו רעהו 10
Emmeeme y’omubi yeegomba okukola ebibi; talaga muliraanwa we kisa n’akatono.
בענש-לץ יחכם-פתי ובהשכיל לחכם יקח-דעת 11
Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina magezi agafuna; n’ow’amagezi bw’ayigirizibwa afuna okutegeera.
משכיל צדיק לבית רשע מסלף רשעים לרע 12
Katonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi, era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.
אטם אזנו מזעקת-דל-- גם-הוא יקרא ולא יענה 13
Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu, naye alikoowoola nga talina amwanukula.
מתן בסתר יכפה-אף ושחד בחק חמה עזה 14
Ekirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi, n’enguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.
שמחה לצדיק עשות משפט ומחתה לפעלי און 15
Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu, naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.
אדם--תועה מדרך השכל בקהל רפאים ינוח 16
Omuntu awaba okuva mu kkubo ly’okutegeera, agukira mu bafu.
איש מחסור אהב שמחה אהב יין-ושמן לא יעשיר 17
Aganza eby’amasanyu anaabanga mwavu, n’oyo ayagala omwenge n’amafuta taligaggawala.
כפר לצדיק רשע ותחת ישרים בוגד 18
Abakozi b’ebibi batuukibwako emitawaana egyandigudde ku balungi, n’ekyandituuse ku b’amazima kituuka ku batali beesigwa.
טוב שבת בארץ-מדבר-- מאשת מדונים (מדינים) וכעס 19
Okubeera mu ddungu, kisinga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.
אוצר נחמד ושמן--בנוה חכם וכסיל אדם יבלענו 20
Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’obugagga eby’omuwendo, naye omusirusiru ebibye byonna abyonoona.
רדף צדקה וחסד-- ימצא חיים צדקה וכבוד 21
Agoberera obutuukirivu n’ekisa, alibeera n’obulamu obukulaakulana n’ekitiibwa.
עיר גברים עלה חכם וירד עז מבטחה 22
Omuntu ow’amagezi alumba ekibuga eky’abazira nnamige, era n’asesebbula enfo yaabwe gye beesiga.
שמר פיו ולשונו-- שמר מצרות נפשו 23
Afuga akamwa ke n’olulimi lwe, yeewoonya emitawaana.
זד יהיר לץ שמו-- עושה בעברת זדון 24
“Mukudaazi,” lye linnya ly’ab’amalala abeeraga, abeetwalira mu kwemanya okw’ekitalo mwe batambulira.
תאות עצל תמיתנו כי-מאנו ידיו לעשות 25
Okwetaaga kw’omugayaavu lwe luliba olumbe lwe, kubanga emikono gye tegyagala kukola.
כל-היום התאוה תאוה וצדיק יתן ולא יחשך 26
Olunaku lwonna aba yeegomba kweyongezaako, naye omutuukirivu agaba awatali kwebalira.
זבח רשעים תועבה אף כי-בזמה יביאנו 27
Ssaddaaka y’omubi ya muzizo, na ddala bw’agireeta ng’alina ekigendererwa ekitali kirungi.
עד-כזבים יאבד ואיש שומע לנצח ידבר 28
Omujulizi ow’obulimba alizikirira, naye ekigambo ky’oyo ayogera eby’amazima kiribeerera emirembe gyonna.
העז איש רשע בפניו וישר הוא יכין דרכיו (יבין דרכו) 29
Omuntu omubi yeekazaakaza, naye omuntu ow’amazima yeegendereza amakubo ge.
אין חכמה ואין תבונה-- ואין עצה לנגד יהוה 30
Tewali magezi, newaakubadde okutegeera, wadde ebiteeso ebiyinza okulemesa Mukama.
סוס--מוכן ליום מלחמה וליהוה התשועה 31
Embalaasi etegekerwa olunaku olw’olutalo, naye obuwanguzi buva eri Mukama.

< מִשְׁלֵי 21 >