< מִשְׁלֵי 20 >

לץ היין המה שכר וכל-שגה בו לא יחכם 1
Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi, era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.
נהם ככפיר אימת מלך מתעברו חוטא נפשו 2
Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma, n’oyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.
כבוד לאיש שבת מריב וכל-אויל יתגלע 3
Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo, naye buli musirusiru ayagala okuyomba.
מחרף עצל לא-יחרש ישאל (ושאל) בקציר ואין 4
Omugayaavu talima mu budde butuufu, kyanaavanga anoonya eby’amakungula nga talina kantu.
מים עמקים עצה בלב-איש ואיש תבונה ידלנה 5
Ebigendererwa ebiba mu mutima gw’omuntu biba ng’amazzi ag’ebuziba, naye omuntu alina okutegeera alibiggyayo.
רב-אדם--יקרא איש חסדו ואיש אמונים מי ימצא 6
Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo, naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?
מתהלך בתמו צדיק אשרי בניו אחריו 7
Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa; ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.
מלך יושב על-כסא-דין-- מזרה בעיניו כל-רע 8
Kabaka bw’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka ng’asala emisango, amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.
מי-יאמר זכיתי לבי טהרתי מחטאתי 9
Ani ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange, ndi mulongoofu era sirina kibi?”
אבן ואבן איפה ואיפה-- תועבת יהוה גם-שניהם 10
Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu, byombi bya muzizo eri Mukama.
גם במעלליו יתנכר-נער-- אם-זך ואם-ישר פעלו 11
Omuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye, obanga birongoofu era nga birungi.
אזן שמעת ועין ראה-- יהוה עשה גם-שניהם 12
Okutu okuwulira n’eriiso eriraba byombi Mukama ye y’abikola.
אל-תאהב שנה פן-תורש פקח עיניך שבע-לחם 13
Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala, tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.
רע רע יאמר הקונה ואזל לו אז יתהלל 14
“Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula; naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze.
יש זהב ורב-פנינים וכלי יקר שפתי-דעת 15
Zaabu n’amayinja ag’omuwendo weebiri, naye emimwa egyogera eby’amagezi kye ky’omuwendo ekisingako.
לקח-בגדו כי-ערב זר ובעד נכרים (נכריה) חבלהו 16
Omuntu bw’aleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gw’atamanyi, kitwalire ddala, na ddala bw’abanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.
ערב לאיש לחם שקר ואחר ימלא-פיהו חצץ 17
Emmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya, naye emufuukira amayinja mu kamwa.
מחשבות בעצה תכון ובתחבלות עשה מלחמה 18
Kola entegeka nga weebuuza ku magezi, bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.
גולה-סוד הולך רכיל ולפתה שפתיו לא תתערב 19
Oyo agenda ng’asaasaanya olugambo abotola ebyama, noolwekyo weewale omuntu ayogerayogera ennyo ebitaliimu.
מקלל אביו ואמו-- ידעך נרו באישון (באשון) חשך 20
Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina, ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.
נחלה מבחלת (מבהלת) בראשונה ואחריתה לא תברך 21
Eby’obusika ebifune ng’ekiseera kyabyo tekinnatuuka, ku nkomerero tebiba na mukisa.
אל-תאמר אשלמה-רע קוה ליהוה וישע לך 22
Toyogera nti, “Nzija kukusasula olw’ekibi kino!” Lindirira Mukama alikuyamba.
תועבת יהוה אבן ואבן ומאזני מרמה לא-טוב 23
Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama, ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.
מיהוה מצעדי-גבר ואדם מה-יבין דרכו 24
Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama, omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?
מוקש אדם ילע קדש ואחר נדרים לבקר 25
Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama, naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.
מזרה רשעים מלך חכם וישב עליהם אופן 26
Kabaka omugezi asengejja n’aggyamu abakozi b’ebibi, n’ababonereza awatali kusaasira.
נר יהוה נשמת אדם חפש כל-חדרי-בטן 27
Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu, n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.
חסד ואמת יצרו-מלך וסעד בחסד כסאו 28
Okwagala n’obwesigwa bikuuma kabaka mu butebenkevu, era obufuzi bwe bunywezebwa na kwagala.
תפארת בחורים כחם והדר זקנים שיבה 29
Amaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka, envi kye kitiibwa ky’abakadde.
חברות פצע תמריק (תמרוק) ברע ומכות חדרי-בטן 30
Emiggo n’ebiwundu biggyawo ebibi, n’embooko zitereeza ebifo eby’omunda ennyo.

< מִשְׁלֵי 20 >